Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya, azziddwayo ku alimanda oluvannyuma lw’okulemererwa okweyimirirwa leero ku Lwokuna. Omulamuzi wa kkooti esookerwako, Gladys Kamasanyu, awaliriziddwa okwongezaayo okuwulira okusaba kwo kweyimirira kw’Omubaka ono okutuusa nga April 15, oluvannyuma lwa bannamateeka be ababiri okukubagana empawa.
Bannamateeka bano okuli Abdul Kiryowa ne Shamim Malende bategeezezza kkooti nti balina ebiragiro okukiikirira Ssegirinya naye balemeddwa okukwatagana mu bigambo byabwe ekyaleeseewo okusoberwa.
Kiryowa ategeezezza kkooti nti babadde beetegese kusaba kweyimirirwa so si kuwulira musango gumuvunaanibwa. Ate ye Shamim Malende ye annyonnyodde kkooti nti babadde beetegefu okuwulira obujulizi oludda oluwaabi lwe bulina ku muntu waabwe naye n’agamba nti ajja kuba yeetegese ekimala okusoya abajulizi ebibuuzo mu lutuula lwa kkooti oluddako ekireeseewo okusoberwa. “Bannamateeka balemeddwa okukwatagana n’okulaga nti beetegese, omu ayogera ekintu ate omulala n’akimenyawo.” Omulamuzi Kamasanyu bw’agambye.
Bannamateeka bano balemeddeko ne bategeeza kkooti nti wadde kkooti yabadde yeetegese okuwulira okusaba kwa Ssegirinya okweyimirirwa awamu n’omusango, bo babadde beetegese kuwulira kimu kweyimirirwa kuba oludda oluwaabi lubadde terunnabawa bujulizi bwe lulina ku muntu waabwe nga bwe kiragirwa mu mateeka.