• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omubaka Ssegiriinya ne Ssewanyana bazziddwayo ku alimanda

Gambuuze by Gambuuze
February 22, 2022
in Amawulire
0 0
0
Omubaka Ssegiriinya ne Ssewanyana bazziddwayo ku alimanda
0
SHARES
56
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Masaka – Buddu

Ababaka ba Palamenti okuli Muhammad Nsereko owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West bazziddwayo ku alimanda mu kkomera  e Kigo okutuuka nga 10 omwezi ogujja ogwa March omusango gwabwe lwe gunaddamu okuwulirwa.

Bano babadde basuubirwa okusindikibwa mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gy’obutemu n’obutujju egyabaggulwako.

Wabula omuwaabi wa gavumenti, Richard Birivumbika ategeezezza Omulamuzi  Christine Nantege owa kkooti esookerwako e Masaka nti okunoonyereza ku musango gwabwe bwe gukyagenda mu maaso era alina n’empapula z’abadde taleese n’asaba ayongerwe akadde.

Munnamateeka wa bano,  Shamim Malende kino akiwakanyizza n’alaga nga bwe waliwo obuzannyo obugenda mu maaso mu musango guno n’ekigendererwa eky’okukuumira abantu bano mu nkomyo.

“Emizannyo gya gavumenti gizannyiddwa era ky’ova olaba nti ne kkooti egambye nti bw’oba ogamba nti empapula tozireese kati nga 10, March olina okujja n’empapula ezikakasa nti obujulizi obuluma abantu bano mu bulina basindikibwe mu kkooti enkulu.” Malendeb bw’ategeezezza.

Malende agamba nti basabye kkooti etunule mu mbeera y’ababaka bano ey’ebyobulamu kuba teri bulungi ate tebafunanga bujjanjabi ate nga n’abaana baabwe bakyali waka olw’ensonga bazadde baabwe be balina okuteekako omukono bwe kituuka okuggyayo ssente.

Okusinziira ku Malende, ababaka bano balina fayiro 2 wabula ziriko emisango egiwera musanvu okuli; obutujju, okuvujjirira obutujju, obutemu obwenjawulo awamu n’emisango emirala. Ono agamba nti fayiro emu yaggwa n’esindikibwa mu kkooti enkulu nga kati bawerennemba ne fayiro eyookubiri eyabaggulwako oluvannyuma lw’okukwatibwa nga baakamala okuyimbula ku kakalu ka kkooti.

Bino we bijjidde nga Maama w’omubaka Ssegiriinya Muhammad  abadde akedde okugumba ku Palamenti nga yeemulugunya ku bbanga mutabani we ly’amaze mu kkomera ono wadde poliisi egezezzaako okumuwooyawooya naye yeeremye okuvaawo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist