• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omubaka Nsereko ne Nyanzi beewandiisizza mu kasirise

Gambuuze by Gambuuze
October 15, 2020
in Amawulire
0 0
0
Omubaka Nsereko ne Nyanzi beewandiisizza mu kasirise
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ntinda

Abeegwanyiza okukiikirira amasekkati ga Kampala, bakedde kugenda ku woofiisi z’ebyokulonda e Ntinda mu ngeri yakipowooze wakati ng’abeesimbyewo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo bagenda maaso okwewandiisa mu nteekateeka eno, egenda okumala ennaku ebbiri.

Omubaka Nsereko nga ali ku woofiisi z’ebyokulonda e Ntinda

Wadde Omubaka Muhammad Nsekero yabadde asuubirwa okutuukira mu bbugumu naye yatambudde mu kasirise okuva mu maka ge Bugoloobi  okutuuka ku woofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda e Ntinda.

Nsereko atambudde ne mukyala we n’abagenda okumusemba era ng’ategeezezza nga bw’atayadde kumenya mateeka gano kubanga bayinza okukikozesa okumulemesa okwewandiisa.

Ate ye bwe bavuganya Fred Nyanzi Ssentamu ali ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP), ategeezezza nti okuyisa ebivvulu mu Kampala si kya magezi naddala mu kiseera ng’ekitebe kyabwe kyakamala okulumbibwa amagye ne poliisi.

“Si kya magezi okuyisa ebivvulu n’okuwerekerwa oluseregende lw’emmotoka nga tonnaba kumala kuwandiisibwa mu kadde kano nga twakamala okulumbibwa,” Nyanzi bw’ategeezezza.

Abakedde okwewandiisa olwaleero kuliko ababaka abalondebwa obutereevu okukiikirira amasaza ag’enjawulo, ababaka abakyala aba Disitulikiti n’ebibuga nga bano bonna bawera omugatte gwa 518 nga be bagenda okutuula mu palamenti y’ekkumi n’emu.

Mu biragiro ebyayisibwa akakiiko k’ebyokulonda, kalabula abeesimbyewo obutayisa bivvulu wamu n’okutambulirira mu luseregende lwa mmotoka, kiyambe okutangira ekirwadde kya ssennyiga Corona.

Akakiiko kaalagidde  abeesimbyewo okugenda n’abantu bana okwewandiisa, enteekateeka eno egenda kumala ennaku bbiri era egenda kumalirizibwa enkya ku Lwokutaano ku ssaawa 11:30 ez’olweggulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist