Bya Madrine Nakiwu
Olusisiira lw’ebyobulamu olwa Tubeere Balamu olutegekebwa Ekitongole ki Kabaka Foundation, lusigaddeko ennaku Mbale bubazi.
Abantu mu Buganda batawanyizibwa endwadde ez’enjawulo, kyokka abangi tebalina busobozi kwetusaako bujjanjabi bwetaagisa, wano Kabaka Foundation we yaviraayo ng’enkolagana n’ebitongole n’amalwaliro ag’enjawulo okutuusa empeereza z’obujjanjabi ezitali zimu ku bantu ba Kabaka ku bwerere, era enteekateeka eno yatuumibwa “Tubeere Balamu”

Ensiisira z’ebyobulamu ze zaakakubwa mu Masaza 5 okuli olw’e; Buddu, Kyaggwe, Busiro, Kyaddondo ne Ssingo, kati olw’e Bulemeezi lugenda kubeera lwa 6. Endwadde eziteekebwako ennyo amaanyi kuliko; kkookolo w’akatungulu mu basajja, n’owebika ebirala, fisitula, mukenenya, ez’amaaso, sukaali, entunnunsi, ez’amagumba n’endala nnyingi.
Abantu ba Kabaka ab’enjawulo baganyuddwa mu nteekateeka eno nga bakeberebwa emibiri okumanya bwe bayimiridde, baweebwa, eddagala, obuwabuzi n’okulungamizibwa ku ngeri gye balina okweyisaamu okussuuka oba obutakosebwa nnyo ndwadde ze basangibwamu.
Olusisiira lwa Tubeere Balamu mu Ssaza Bulemeezi lugenda kumala ennaku 2; nga 24 ne 25 Mukutulansanja ku ssomero St. Jude Primary School okuliraana ekigo ky’e Kasana Luwero.Olukiiko oluteekateeka olusiisira luno lutudde e Bulemeezi okutema empenda ku ntegeka ennuŋŋamu enaasobozesa abantu b’e Bulemeezi okufuna obujjanjabi awatali ku kaluubirizibwa.

Olukiiko lwetabiddwamu ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk Edward Kaggwa Ndagala, omwami w’Essaza Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo, bannaddiini, abaami ba Kabaka e Bulemeezi aba buli mutendera, bannamikago, n’abalala.









