
Bya Gerald Mulindwa
Buloba – Busiro
Obwakabaka butemye evvuunike ery’okuzimba ekisulo ky’abayizi abawala ku Lubiri High School ettabi ery’e Buloba.
Ekisulo kino kya myaliiro esatu era kyakumalawo ensimbi ezisoba mu buwumbi bibiri n’ekitundu (2.5bn). Zino zaakuwebwayo Centenary Bank mu nkola ya kwewola.
Omulimu guno gutongozeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya, tekinologiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo. Ono ategeezezza nti omusingi essomero lino gwe lyatandikirako gwe guliyambye okutambula nga ligenda mu maaso naddala n’obukulembeze bwalyo mu myaka gino e 12,

Oweek Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, yeebazizza centenary bank olw’obuwagizi mu by’ensimbi ng’agamba nti bbanka eno esobozesezza Obwakabaka okwewola ensimbi okuzimba ebizimbe eby’enjawulo ku ssomero lino, era yebazizza n’abazadde abawaddeyo abaana baabwe okubangulwa.
Asabye akakiiko akazimbi akateereddwawo okulondoola omulimu gw’okuzimba, okufuba okulaba nga abazimbi bakola omulimu omuggumivu obulungi era oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Ye Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku byenjigiriza, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ayagala abayizi banywerere ku ssomero okuviira ddala ku S.1 okutuuka ku S. 6, baleme kugenda walala nga bamazeeko S.4, naye kino akitadde ku nkwata y’abaana n’abazadde ennungi erina okukolebwa abasomesa n’abakulu be ssomero lino. Abasabye okukiteekako essira.

Amos Gitta, Ssentebe wa Bboodi, agambye nti ekizimbe kino kyakuzimbibwa mu myaka etaano, agamba nti olw’omuwendo gw’abayizi okweyongera wabaddewo obwetaavu obw’okwongera ekizimbe ekirala ekinaasulwamu abaana 900.