• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okutaasa ettaka ly’Obwakabaka e Busaabala

Gambuuze by Gambuuze
March 19, 2026
in Amawulire
0 0
0
Okutaasa ettaka ly’Obwakabaka e Busaabala
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Busaabala – Kyaddondo

Abakungu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda balambudde ettaka, abantu n’emirimu egikolebwa mu Lubiri lwa Kabaka Mukasa e Lusiiti Busaabala mu ssaza Kyaddondo. Wabaddewo ensisinkano n’abatuuze abawangaalira wano okusala entotto ku birina okukolebwa okukuuma ekifo kino.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono mu Buganda Owek. Anthony Wamala ategezezza nti ekifo kino kisaanidde okubeera n’obukulembeze obumanyiddwa obulungi, n’ennambika yabwo okulaba nga embuga ekuumibwa bulungi awamu n’okulambika endabirira ya yo.

“Tetuyinza kukkiriza fujjo kugenda mu maaso wano nga liva ku bukulembeze obutanywedde. Tuteekeddwa okumanya omukulembeze ali mu kifo kino, engeri gy’azzeemu era kye kirina okusooka okukolebwako, kitereezebwe bulungi.” Oweek. Wamala.

Oweek. Wamala abakunze okuteekawo enkola etambulira ku mulembe, okusitula ekifo kino mu nkulakulaana nga tetyoboola buwangwa nga kino kigenda kutwaliramu n’okulambika ebikolebwa ku mbuga eno bimanyibwe bulungi abantu abajjayo.

Minisita Wamala abawadde endowooza okuvaayo n’enteekateeka enungamu ey’ebyokwerinda okukuuma ekifo kino nga eno ewomeddwamu omutwe obukulembeze obunaaba buteekeddwawo.

Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe Oweek. Daudi Mpanga akikaatiriza nti kisaanidde abayima ku ttaka lino okuwandiisibwa bafune ekyapa era asabye obukulembeze bw’Ekika ky’Eŋŋonge okukwatagana ne Minisitule y’Ettaka mu Buganda okutuukiriza obuvunanyizibwa buno.

Oweek. Mpanga abatuuze abasabye okuwandiika emirimu egikolebwa kisobozese abo abajja mu buweereza mu biseera eby’omumaaso era yeyamye ku lwa minisitule gy’akulembera okubakwasizaako okukuuma ekifo nga tekikoseddwa.

Omukulu w’Ekika ky’Eŋŋonge Omutaka Kisolo Muwanga Ssebyooto atottodde obuvo bw’ekifo kino ng’agamba nti ekifo kino kiyise mu kusoomoozebwa okw’enjawulo omuli ekibba ttaka n’okwesenzako nga kyali kya yiika 30 naye olw’abantu abenoonyeza ebyabwe kizze kisalwaako. Ono era yebaziza nnyo Omulangira Luwangula olw’amannyi ge yateeka mu kunnunula embuga eno mu mikono gy’abantu abali baagala okugitwala.

Ye Jjajja w’Olulyo Olulangira era Ssentebe w’Akakiiko k’Obuwangwa n’Ennono Ssaalongo Luwangula Basajjansolo asabye ebikolwa by’obufere ebirabikidde ku kifo kino okukomezebwa ng’agamba nti bikonzibizza enkulakulaana ku ttaka lino.

Mw. Mukasa Kasimiiri nga y’akikiridde Ssenkulu w’Ekitongole ky’ettaka mu Bwakabaka Buganda Land Board, asabye buli akola emivuyo ku ttaka lino ng’ate abeera wano ku mbuga eno akikomye era yeyamye okukwatagana awamu ne Minisitule y’Obuwangwa okulaba nga ekifo kimalibwako ab’ekyejjo.

Ekifo kino kya nkizzo nnyo mu buwangwa b’Obwakabaka naddala mu ssiga ly’Olulyo Olulangira awamu n’Ekika ky’Engonge; Kabaka Mukasa y’ewokumazzi ate Najjemba okuva mu kika ky’Engonge y’atwala ennyanja eri ku mbuga eno.

Embuga ez’enjawulo eziri mu kifo kino kuliko; Ennyumba ya Nnaalongo Nabinene, Nakayima, omwaliiro gwa Kabaka Mukasa, embuga ya Kabaka Ndawula n’ebirala.

Ttiimu evudde mu Bwakabaka ekulembeddwamu ba Minisita; Oweek. Dr. Anthony Wamala awamu n’Oweek. David FK Mpanga, Jjajja w’Olulyo Olulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo, Omutaka Kisolo Muwanga Ssebyooto, akulira eby’okwerinda mu Bwakabaka Capt. Christopher Lutwama n’abakungu abalala bangi nnyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.