
Bya Samuel Stuart Jjingo
Lubaga – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubagizza ab’Enju ya Owek. Tofiri Kivumbi Malokweza omugenzi kati n’abasaasira okuviibwako omuntu waabwe gw’atenderezza olw’okwolesa obwagazi eri Kabaka we mu ku muweereza ssaako okusikiriza abalala okwagala Obwakabaka.
Obubaka bwa Katikkiro busomeddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule mu lutikko e Lubaga ewabadde okusabira omwoyo gw’omugenzi Malokweza eyaliko omwami w’Essaza Kyaddondo era omusirikale wa Paapa.

Ku lulwe, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ayogedde ku mugenzi nga omuntu ayambye ennyo okuzimba n’okwagazisa abaweereza emirimu gy’Obwakabaka.Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere y’akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa, akuutidde abantu bulijjo okubaako kye bakolera Ensi yaabwe nga bayita mu buweereza obw’enjawulo basobole okuleka omukululo ogulibajjukirwako abalibeerawo mu kiseera ekyo.
Joseph Busirike ku lwa bamulekwa yebazizza Kitaabwe olw’okubeera eky’okulabirako naddala mu nneeyisa eri abantu.
Okusaba kuno kwetabiddwamu Nnaalinnya Sarah Kagere, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki, Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala, ba Katikkiro abawummuze, abaami b’Amasaza ab’enjawulo, ab’oluganda n’emikwano gy’omugenzi.
Omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa mu maka ge ku kyalo Ngondati mu Buddu gy’anaaziikibwa ku Lwokusatu luno.









