
Bya Shafik Miiro
Kibuli -Kyaddondo
Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, avumiridde ebikolwa eby’effujjo omuli n’okukuba abantu ebyalabikidde mu kalulu ky’ okujjuza Omubaka wa Kawempe North.
Obubaka buno, Omulangira abuweeredde mu misaala Eid ku muzikiti e Kibuli ku Ssande.
Mbuga asabye abantu naddala abavubuka okubeera abakakkamu naddala mu mbeera y’ebyokulonda esembedde, kiyambeko okwewala ebiyinza n’okutwala obulamu bwabwe.

Omulangira Nakibinge mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza abasiraamu abatadde ekitiibwa mu Allah ne basiiba omwezi gwa Ramadan era asabye abantu okusigala nga ba mpisa n’okwongera okulongoosa mu maaso ga Allah wadde nga ekisiibo kiwedde.
Ye Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asinzidde wano neyeeyanza Nnyinimu olw’obubaka bwa Eid bwe yawadde Obuganda era n’asaba abantu okubwefumiitirizaako ennyo n’okubuteeka mu nkola.
Asabye ne Gavumenti okwekenenya ensonga Maasomoogi gye yayogeddeko ey’engeri emirimu gya Gavumenti gye gigabibwamu eteerezebwe.

Owek. Kaawaase era ajjukiza Obuganda nti okwetaba mu kujaguza amazaalibwa ga Kabaka mu bikujjuko ebyenjawulo naddala emisinde gy’Amazaalibwa egisembedde egiriyo ku ssande nga 06/04/2025.
Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi yeebazizza abaddu ba Allah abasiibye mu mwezi gwa Ramadan n’abasaba okwongera okukola ebikolwa ebirungi n’asaba naabo Katonda baasitudde mu byensimbi okuyamba ku beetaavu.
Sheikh Galabuzi asabye Gavumenti ne KCCA okugonjoola embeera y’amataba agalabika mu kibuga mu biseera by’enkuba g’agambye nti gakoseza nnyo obulamu bw’abantu n’ebintu byabwe era geetaga okusalira amagezi mu bwangu.

Okusaala Eid ku muzikiti e Kibuli kwetabiddwamu Owek. Hajj. Ahmed Lwasa, Owek. Hajj. Amiisi Kakomo, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo Bamasheikh, Abakulembeze mj Gavumenti eyawakati n’abantu abalala.
Oluvannyuma lw’esswala ya Eid, Omulangira Kassim Nakibinge mu nkola ye eya buli mwaka, agabudde Abasiraamu ekijjulo mu maka ge e Kibuli.