Bya Samuel Stuart Jjingo
Lubya – Kyaddondo
Abaweereza mu Minisitule y’Enkulakulaana y’Abantu awamu ne woofiisi ya Maama Nnaabagereka bajaguzza akabaga akaggalawo omwaka ku Georgina Gardens, e Lubya mu Kyaddondo.

Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko asiimye nnyo abategesi b’akabaga kano akagendereddwamu okumanyagana, okunyweza oluganda awamu n’okunyweza obumu mu baweereza abakola mu bitongole eby’enjawulo ebiri mu minisitule eno.Minisita
Minisita Nakate yebazizza nnyo Katonda olw’enkulakulaana etuukiddwako naddala mu woofiisi ya Maama Nnaabagereka omuli; ekisaakaate ekyajjumbirwa enkuyanja y’abantu wamu ne mu minisitule y’Enkulakulaana y’Abantu Ssaabasajja Kabaka gye yasiima n’atandika amasomero 11 ag’abaana abato.
Akulira ensonga z’abakozi mu Bwakabaka, Muky. Josephine Namala nga y’abadde omugenyi omukulu ku kabaga kano atenderezza obumu obwoleseddwa abaweereza ba Minisitule eno n’abeebaza okubererawo Minisita waabwe Oweek. Nakate mu ntambuza y’emirimu omwaka guno.Ssenkulu

Ssenkulu w’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation Omuk. Andrew Adrian Mukiibi asiimye enteekateeka eno ne yebaza Katonda olw’ebituukiddwako omwaka guno.Akabaga
Akabaga kano ketabiddwako abawereza ab’enjawulo okuva mu minisitule n’ebitongole ebigwa mu Minisitule eno.









