• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okukuza Olunaku lwa Abakyala mu Buganda 2026

Gambuuze by Gambuuze
March 12, 2026
in Amawulire
0 0
0
Okukuza Olunaku lwa Abakyala mu Buganda 2026
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Omukolo gw’okukuza olunaku lw’Abakyala mu Buganda gwa kubeera Buwama Mawokota.

Enkya 12 Mugulansigo Obwakabaka bwa Buganda lwe bugenda okukulizaako olunaku lw’Abakyala era entikko y’omukolo ya kubeera Buwama mu Mawokota. Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda y’asuubirwa okuba omugenyi omukulu.

Mu kusooka, Nnaabagereka ajja kulambula emirimu gy’Amaka amalungi akaalo amatendo ew’Omukyala Nantume Josephine n’Omwami Vincent Ssemanda mu muluka Mbizzinnya. Oluvannyuma Nnaabagereka ajja kwolekera ekyalo Katikanyonyi okulambula amaka ga Namwandu Zainabu Nakijoba Ssabiiti, omulunzi w’enkoko, akola eddagala ly’obutonde, mulimi, akozesa bulungi amazzi okubuna olusuku n’ebisolo. Nga avudde mu kulambula ebifo bino.

Nnaabagereka wa kwolekera Buwama ku kisaawe ky’Essaza ku mbuga y’e Ggombolola Musaale Buwama ewategekeddwa entikko y’omukolo gw’Abakyala era wano abakyala okuva mu Masaza ga Buganda gonna webanaakungaanira okukuza olunaku lw’abwe.

Enteekateeka eno efulumiziddwa Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Bulange enkya ya leero. Omukolo gwa kutambulira ku mulamwa;

“okusobozesa Abakyaka okukulemberamu enkyuukakyuka mu by’obusuubuzi, eby’obulamu n’ebyobutonde bw’ensi”.Oweekitiibwa Mariam annyonnyodde nti omulamwa ogwalondeddwa guluubirira okuteekawo enkyuukakyuka naddala mu mirimu egikolebwa abakyala mu Buganda “Twalaba nga ebintu ebyo okuli obusuubuzi, eby’obulamu n’obutonde bwebissibwako essira bisobola okuleeta enkyuukakyuka mu nkulaakulana y’Abakyala olw’ensonga nti byonna bitambulira ku mirimu gye bakola”. minisita Mariam Mayanja bw’alambuludde.

Minisita Mariam akunze abantu ba Kabaka okuva mu buli kanyomero k’Ensi bajje beetabye ku mukolo gw’Abakyala balabe ebintu eby’enjawulo bannakazadde b’eggwanga bye bakola.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist