Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Ebitongole by’Obwakabaka ebyasinga mu ntambuza y’emirimu mu mwaka 2025 bikwasiddwa ebirabo mu nteekateeka ekulembeddwamu Omumyuka Asooka owa Katikkiro mu Bulange e Mmengo.
Obwakabaka bwa Buganda buzze butandikawo ebitongole eby’enjawulo ebikola emirimu n’obuweereza mu bantu ba Kabaka nga bino wetwogerera bisoba mu makumi abiri (20). Bino kuliko leediyo CBS, BBS Terefayina, Buganda Royal Institute, Buganda Land Board, Majestic Brands Ltd, Lubiri Nnaabagereka Primary School, BICUL, Nnamulondo Investments Ltd, n’ebirala.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo nga tannakwasa birabo, ategeezeza nti ebitongole by’Obwakabaka byalina okusoomoozebwa edda nti byakolanga emirimu nga tewali nkola nnunŋŋamu nga buli kitongole kikola emirimu nga bwe kirabye, kyokka oluvannyuma Obwakabaka bwasalawo okutandika enkola ey’okulondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bino okusobola okulinnyisa omutindo gw’empereeza.
“Emyaka 5 egiyise, Kabineeti yasalawo ebitongole ebikize ku birala mu nkola y’emirimu bisiimibwe okusobola okuteekawo okuvuganya okugendererwamu okusitula omutindo gw’empereeza y’ebitongole byonna, era mu kiseera kino buli kitongole kirina bboodi eziyambako okulondoola entambuza y’emirimu ate n’obukulembeze obuddukanya emirimu egya buli lunaku mu kitongole” Kaawaase.
Prof. Kaawaase agamba nti singa wabaawo ebitatambudde bulungi mu kitongole ky’Obwakabaka kyonna amaaso gatunuulizibwa bukulembeze bwa Bwakabaka, ekiraga obukulu bw’ebitongole bino okulondoolebwa okukakasa nti buli ebikolebwa kiruŋŋamiziddwa. Agamba newankubadde waliwo ebitongole 2 ebitannaba kulaba bukulu bwa nsonga eno, essuubi weeriri nti mu maaso bajja kwegatta ku nkola eno olw’obulumi bwayo.
“Okuva enkola ey’okulondoola entambuza y’emirimu mu bitongole lwe yatandika, waliwo okugenda mu maaso kwa maanyi nnyo mu mirimu egikolebwa buli kitongole, ate ekyo kye tetwagala kubanga ebitongole by’Obwakabaka byoleka ekifaananyi ky’Obwakabaka mu bantu” Owek. Kaawaase.

Prof. Kaawaase yebazizza obukulembeze bwa bboodi ez’enjawulo eziyambye nnyo mu kutuukiriza omulamwa gw’enteekateeka eno, yebazizza abaddukanya emirimu gya buli lunaku mu bitongole abakulirwa ssenkulu, ne yebaza n’abakozi bonna abakola mu bitongole by’Obwakabaka olw’ofuba ku kukuuma ekifaananyi ky’Obwakabaka.
Ensonga enkulu nnya (4) ze zitunuulirwa mu kulondoola emirimu gy’ebitongole okuli; enkolagana y’ekitongole ne Gavumenti ya wakati mu kutuukiriza emisomo gya Gavumenti nga okuwa emisolo n’emirala, okutuukiriza eby’amateeka agafuga eggwanga, engeri ekitongole gye kituukirizaamu ensonga eyakiteekesaawo, n’enkwata y’ensimbi mu kitongole, eby’emisolo n’obwerufu. Bino byonna bigabibwako obubonero era ku bitongole byonna ebisoba mu 20, ebitaano (5) ebisinze biweebwa ebirabo.
Ekitongole ki Central Broadcasting Services – CBS kye kyasinga mu ntambuza y’emirimu mu kugatta emitendera gyonna, kyokka mu kumenyamenya, CBS ne Majestic Brands basibagana mu kifo ekisooka ku nsonga y’enkolgana ne Gavumenti ya wakati, BBS Terefayina ye yasinga mu nsonga y’okutuukiriza amateeka n’eddirirwa CBS, mu kutuukiriza ensonga eyatandisaawo ekitongole BBS Terefayina ye yasinga n’eddirirwa Nnamulondo Investments Ltd ate mu nkwata y’ensimbi, okuwala omusolo n’obwerufu CBS ye yasinga n’eddirirwa BBS Terefayina.

Abawanguzi ba buli mwaka mu nteekateeka eno balangirirwa ku lunaku lw’okuggalawo emirimu mu Gavumenti ya Kabaka olubeerako ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo, kyokka Owek. Kaawaase ategeezeza nti kyasalibwawo ebirabo bikwasibwe mu mwaka oguddirira okusobola okuwa abawanguzi okujaguza obulungi ng’abakozi bonna webali kubanga kubaako ebirabo nga embuzi eri abasinze abataano mu buli nnyingo, ate omuwanguzi w’okuntikko n’aweebwa ente.
Abakulira ebitongole betwogeddeko nabo bategezezza nti enkola eno ey’okulondoola emirimu gye bakola ebayambye nnyo okugenda mu maaso nga bagamba nti okuvuganya tekukoma ku kuwangula birabo kyokka, wabula nabo kibayamba okulongoosa emirimu gyabwe naddala nga baluubirira okugattako buli mwaka. Bano basanyukidde ebirabo ebibaweereddwa okuli embuzi n’ente wadde bibaweereddwa mu nsimbi, bategezeezza nti bagenda kujaguza n’abakozi baabwe kubanga be batambulirwako emirimu









