• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okukomya Effujjo mu Mupiira gw’Amasaza

Gambuuze by Gambuuze
August 14, 2025
in Amawulire
0 0
0
Okukomya Effujjo mu Mupiira gw’Amasaza
0
SHARES
115
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Ku Lwomukaaga nga 9 Muwakanya 2025 waliwo effujjo eryalabikira mu bitundu by’e Buvuma oluvannyuma lw’omupiira ogwaggwa amaliri ga 1-1 wakati wa Buvuma ne Bugerere.

Okusinziira ku bifaananyi n’obutambi obwasaasanira emitimbagano, waliwo abantu abaalumizibwa ne bavaawo n’ebisago ate ne wabaawo n’emmotoka ezaayibwa endabirwamu n’ebintu ebirala ebyayonobebwa olw’ebigambwa nti waliwo okukasuka amayinja n’okukubagana emiggo.

Embeera eno yawalirizza Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga okubiteekamu engatto n’agenda e Buvuma okusisinkana abakulembeze baayo, abaddukanya omupiira mu Ssaza lino wamu n’abebyokwerinda okumanya embeera eyaliwo ku lunaku olwo.

Minisita Serwanga oluvannyuma mu woofiisi ye mu Bulange e Mmengo, asisinkanye abakulembeze okuva mu Ssaza Bugerere abakulembeddwamu Mugerere Owek. Samuel Ssemugooma, Omumyuka we n’abamu ku bakulira omupiira mu Ssaza lino ne boogera ku mbeera eyaliyo n’engeri ensonga zonna bwezinaagonjolwa.

“Tukola buli kisoboka okulaba nti embeera eyaliwo teddamu kusangibwa mu ssaza lyonna, abantu baffe abagenda n’essanyu okuwagira omupiira ate okuddayo nga banyiikaavu” Minisita Serwanga.

Ono ategeezeza nti abantu bangi ab’e Buvuma ne Bugerere abakosebwa n’ebintu bingi ebyayonobebwa, era asaasidde abo bonna abakosebwa mu mbeera ez’enjawulo kyokka ategeezeza nti okusisinkana enjuyi zombi baluubiridde okutema empenda okuvvuunuka embeera eno eyaliwo n’okwewala okuddamu okugiraba.

Minisita Serwanga agamba nti ebyaliwo tebyakoma kulinyirira mateeka ga mpaka z’Amasaza gokka wabula n’amateeka gafuga Ensi era ategeezeza nti ensonga zaayinguziddwamu poliisi okunonyereza okusobola okufuna obwenkanya eri abaakosebwa n’okukwata abo abeenyigira mu ffujjo lino amateeka gabalamule.

Owek. Serwanga asabye abantu bonna abeetaba mu mpaka zino okufaayo okukuuma ekifaananyi ky’empaka awatali kwerabira lwaki Kabaka yazitandikawo. Ono ajjukiza buli muntu nti empaka zino ziruubirirwa kusitula bitone, kunyweza bumu mu bantu, kulwanyisa mukenenya n’ebirala.

Abaami b’Amasaza bombi; Mbuubi Owek. Micheal Mboowa Omwami w’Essaza Buvuma ne Mugerere Owek. Samuel Ssemugooma owa Bugerere beebazizza Minisita Serwanga n’olukiiko oluteesiteesi olw’empaka zino olw’okusitukiramu ku nsonga eno, era bagamba nti betegefu okuwagira enteekateeka ezigenda okukolebwa okugonjoola embeera eno.

Bano abasikaŋŋanye ne mu mikono nga basisinkanye mu Bulange e Mengo basuubiza okwongera okuluŋŋamya abantu baabwe okulaba nti embeera eno yewalibwa.

Ku kkono ye Mugerere Samuel Ssemugooma, wakati Minisita Robert Serwanga, ku ddyo Mbuubi Michael Mboowa

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.