Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Gayaza Old Student’s Association eruubirira okuteekateeka okugaziya ekkanisa omusabirwa abayizi ku Gayaza High School nga bano bagamba nti wadde waliwo ekkanisa eyazimbibwa enkadde naye etuuza omuwendo gw’abayizi mutono ddala kw’abo abasomera ku ssomero eryo olwo abangi ne bafikkira mu nsonga z’okubalyowa emyoyo.

Enteekateeka eno eyanjuddwa ssentebe wa Gayaza Old Student’s Association n’olukiiko lwe eri Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda ku Bulange e Mmengo.
Ssentebe wa Gayaza Old Students Association Christine Kasule Mulimba alaze nti balina obwagazi bungi okuwagira okugaziya ekkanisa omusabirwa abayizi era bateeseteese omukolo nga 21 Mugulansigo 2026 ku ssomero wenyini e Gayaza olw’ensonga nti bbo bagabana ku birungi by’ekkanisa eyo we baasomera era bagyamu ebirungi bingi ebibasobozeseza okufuuka abakyala abenjawulo mu ggwanga.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu bonna mu ggwanga okwetaba ku mukolo ogutegekedwa abayizi bano basobole okutuukiriza omulimu guno gw’agambye nti mulungi ddala.
“Abantu mwenna njagala okubakubiriza nti mujje tuwagire okugaziya ennyumba ya Mukama abaana baffe gye basobola okugenda ne bafuna ekiseera ekisanidde mu kulyowebwa emyoyo nabo bafune ebirungo bajjajjabwe, bannyabwe, ne bakulu baabwe bye bafuna olwo bajje munsi nga bantu bagumiikiriza, bakakkamu era nga besigwa okutambula nabo mu bulamu” Oweek Nsibirwa.

Omukolo gw’okusonda ssente ezo gusuubirwa okukulemberwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda His Grace Samuel Stephen Kaziimba Mugalu n’okusaba oluvannyuma beeyune ekyeggulo ekinaasasulirwa okuva ku mitwalo asatu mw’etaano (350,000) wamu n’emitwaalo ensanvu (700,000) naye nga ne ssente endala eziwagira enteekateeka eno zaanirizabwa.









