• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka Bwongedde Obukadde 200 eri Eddwaaliro ly’e Nkozi Okutaasa Abafuna Obubenje

Gambuuze by Gambuuze
December 11, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka Bwongedde Obukadde 200 eri Eddwaaliro ly’e Nkozi Okutaasa Abafuna Obubenje
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bwongedde nebuwaayo obukadde 200 eri eddwaliro ly’e Nkozi erigenda okuyambako ku kuzimba kw’eddwaliro erijjanjaba  abantu ababeera bagudde ku bubenje kitaase embeera.

Ensimbi zino  Kamalabyonna Charles Peter Mayiga yazikwasizza abakulira eddwaaliro ly’e Nkozi nga abawadde  ‘Cheque’ ya 206,325,000/= nga zino zaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka 2024 ng’ ensisinkano eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

Owek. Mayiga asinzidde wano najjukiza abantu ba Buganda nti ebyobulamu y’emu ku nsonga enkulu Ssaabasajja kw’atadde amaanyi era Obwakabaka bwenyigira mu nteekateeka ez’enjawulo okuwagira obulamu obulungi.

Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwakugenda mu maaso n’okuwagira omulimu gw’okuzimba woodi y’abagudde ku bubenje e Nkozi okutuuka nga gugguse.

Kamalabyonna era akuutidde  abantu okwewala obubenje ku makubo; obutavuga ndiima, okwewala ettaamiiro n’okugoberera amateeka g’okunguudo kibayambeko okutaasa obulamu bwabwe. Mu ngeri y’emu azzeemu okukubiriza Gavumenti okuteeka obupande bw’okunguudo mu nnimi ennansi abantu ze bateegera obulungi.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era nga ye Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka ekyeggulo kya Kaliisoliiso, akakasizza  nti wabaddewo okugenda mu maaso mu mwaka guno okusinziira nti omwaka oguwedde bakungaanya obukadde 172 ate mu guno ensimbi zirinye okutuuka ku bukadde 200.

Owek.  Nsibirwa yeebazizza obumu bw’abantu ba Buganda n’engeri gye bajjumbidde okuwagira omulimu guno, era agamba nti essuubi libeeyongera buli mwaka nti omulimu gujja kumalirizibwa.

Akiikiridde Ssaabasumba Paul Ssemogerere ku mukolo guno, Msgr. Charles Kasibante , yebazizza Obwakabaka olw’okuwagira omulimu gw’okuzimba eddwaaliro lino, era awadde obweyamu nti Ekereziya yakwongera okulondoola omulimu guno okulaba nga gumalirizibwa bulungi. Yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’ettofaali ly’ateeka mu byobulamu, n’asiima ne bonna abavuddeyo okuwagira eddwaaliro ly’e Nkozi.

Ssenkulu wa Centenary Bank, Omuk. Fabian Kasi ku lwa bannamukago yebazizza olw’omukisa ogubaweebwa okuwagira enteekateeka eziyamba abantu, era asuubiza nti bakwongera okuwagira enteekateeka y’ekyeggulo kya Kaliisoliiso era bwatyo akunze abantu abalala bonna okuvaayo ku nteekateeka nga zino.

Ku mukolo guno era kirangiriddwa nti ekyeggulo kya Kaliisoliiso ekiddako kyakubaawo omwaka ogujja nga 3 omwezi ogw’ekkumi (Mukulukusabitungotungo) okwongera amaanyi mu mulimu guno. Kinajjukirwa nti ekyeggulo kya Kaliisoliiso kitegekebwa buli omwaka, Obwakabaka bwa Buganda, Leediyo CBS okuyita mu pulogulaamu ya Kaliisoliiso ne bannamukago okuli Rotary, Centenary Bank n’abalala.

Ensisinkano eno yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Choltildah Nakate, Abakulira leediyo CBS n’abakozi, Bannalotale, Abakulira eddwaaliro ly’e Nkozi ne Bannamukago ab’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.