Bya Samuel Stuart Jjingo
Kyengera – Busiro
Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Minisitule y’abavubuka butandisse enteekateeka y’okuluŋŋamya abavubuka n’okubawa amagezi ku ngeri gye balina okutambuza obulamu, eno egenda kubunyisibwa mu matendekero gonna ag’awaggulu okwetoloola eggwanga.
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’EbitoneOweek. Robert Serwanga Ssaalongo enteekateeka eno agitandise bw’asisinkanye abayizi bannankobazambogo ku ttendekero lya Al-Mustafa Islamic College erisangibwa mu ggombolola Ssaabagabo Nsangi ssaza Busiro nga ayaniriziddwa Omukulu waalyo Dr. Rouhallah Dehghani n’abakulembeze okuva mu ggombolola eno.
Minisita Serwanga agamba nti atandise okutalaaga amatendekero gonna ng’ayanjula enteekateeka y’okugabana amagezi etuumiddwa “Amagezi Muliro” egendereddwamu okubangula bannankobazambogo okwesitula bayite mu ssomero nga teribasaze. Enteekateeka eno yakutambira mu matendekero gonna agalina ebibiina bya Nkobazambogo mu Uganda.
Oweek. Serwanga asabye abayizi bano okukola buli kimu ekisoboka okutuukiriza omulamwa omukulu ogubatwala ku ssomero ng’agamba nti ensi erindiridde kubalaba nga bakungudde ebirungi ebiri mu kusoma wabula ssi kukalubirirwa nakuswaza gye bava.
Minisita agamba nti Obwakabaka bukolagana wamu n’amatendekero 104 mu ggwanga lyonna omuli ekibiina kya Baganda Nkobazambogo era musanyufu nnyo nti ettendekero lino lye limu kw’ago nga lifulumizza n’abantu ab’omuzzinzi abalabibwako mu bukulembeze nga Mw. Hannington Kakeeto kati nga ye Mukubiriza w’Olukiiko lw’abavubuka mu Buganda.
Oweek. Serwanga agamba nti nga bannankobazambogo basaanidde obutasuula buwanga na nnono zaabwe nga bakyali mu ssomero era wano w’abasabidde okubikuuma nga babissa mu nkola.

“Kimanyikiddwa nti wano mu Buganda, tosobola kuwasa mu kika kyo awamu n’ekya maama wo era waliwo ensonga lwaki bajjajjafe bakiteekateeka bwebatyo,” Minisita Serwanga.
Dr. Rouhallah, Omukulu w’ettendekero lino agamba nti kya nkizo nnyo okutenderezza obwagazi n’okwagala kwe bafunye mu bbanga lye bamaze nga essomero lino litambuza emirimu gyalyo mu kitundu kya Buganda era bwatyo asabye Obwakabaka okutambulira awamu nabo mu kaweefube gwe baliko okuteekateeka omutuuze w’eggwanga ajjudde.
Ye Kitunzi w’ettendekero lino Mw. Ssemakula Uthuman yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’enjigiriza nga ayita mu nteekateeka ya “Kabaka Education Fund” era bwatyo aweze nti nabo bagenda kukwasizaako Kabaka okuweerera abaana ba Buganda. Wano akunze abantu bonna okujumbira enteekateeka ya Ssaabasajja Kabaka eno nga basaba okujja ku ttendekero lino babangulwe.
Minisita awerekeddwako Omukwanaganya w’Abavubuka mu Bwakabaka Oweek. Hassan Kiyemba, abakulembeze b’Obwakabaka okuva mu Ssaabagabo Nsangi awamu n’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abavubuka mu Buganda Mw. Hannington Kakeeto Sseremba n’abalala.









