Bya Miiro Shafik
Masaka – Buddu
Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa akwasiddwa engule esiima Obwakabaka olw’okuwagira ennyo enkulaakulana y’Obweggasi mu Uganda, eno bagimukwasiriza mu lukuŋŋaana ttabamiruka olw’Obweggasi mu Uganda olubadde e Masaka.
Oweek. Nsibirwa, Omuwanika wa Buganda ku mukolo guno akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga era yagguddewo ttabamiruka ono eyategekeddwa Minisitule y’Ebyamakolero n’Obweggasi mu Uganda. Asinzidde wano n’akubiriza abantu ba Buganda okujjumbira Obweggasi kibayambeko okwekulaakulanya.
“Tosobola kuva mu bwavu, okuggyako ng’oli mu katale k’ebyensimbi” Oweek. Nsibirwa. Ono agamba nti Obwakabaka butadde amaanyi mu kukubiriza abantu okwettanira obwegassi basobole okukolera awamu, okutereka, okusiga ensimbi, okugaziya emirimu gyabwe n’obutale nga bayita mu bibiina byabwe era agamba nti waliwo ebirabwako mu kaweefube ono, nga kati ku Masaza 18 aga Buganda, mwenda (9) ku ggo waliyo ebibiina bya CBS PEWOSA.
Wano waasinzidde n’asaba Gavumenti obutateeka misolo ku bibiina bya bwegassi kubanga kitta omutima gwa bannakibiina abatereka ate okusanga n’ensimbi zaabwe zikendeera olw’emisolo, bwatyo n’asaba emisolo gisigale ku bintu ebyo abantu bye bagula ng’amafuta, bbiya, sukaali n’ebirala. Ono era akubirizza Gavumenti enkola zaayo ez’okuggya abantu mu bwavu nga Emyooga n’endala, ensimbi ziyisibwe mu bibiina by’Obweggasi kubanga bibeera n’enkola ennuŋŋamu ezituusa obuweereza obulungi ku bantu.
Oweek. Nsibirwa akubirizza abeegassi okukubiriza n’okwagazisa abantu abalala obweggasi, n’asaba n’ebibiina okubangawo enkolagana mu bbyo, okusobola okuwaŋŋana amagezi nga biwuliziganya n’okuwabulagana ku nsonga ez’enjawulo. Wano era asabye ne Gavumenti okuteeka ssente mu bitongole ebivunaanyizibwa ku kuluŋŋamya ebibiina by’obweggasi nga ekya Uganda Cooperatives Association, olwo bisobole okutuusa emisomo ku bantu ne kubakulira ebibiina ku ngeri ennuŋŋamu ey’okukwatamu emirimu. Agamba nti bino bwe binaakolebwa, wajja kubaawo enkulaakulana ey’olutentenzi era eyannamaddala.
Olukuŋŋaana luno lukulembeddemu olunaku olw’Obweggasi mu Uganda olw’okukuzibwa nga 20/07/2024 e Kibinge, Bukomansimbi nga lutambulizibwa ku mulamwa “Obweggasi mu kuzimba ebiseera by’omumaaso eby’abantu bonna.”