
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo obukadde 114 ziyambeko mu kuteekateeka embaga ya Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV ne Inebantu Jovia Mutesi nga 18 November.
Omukolo okwanjuliddwa ettu lino gubadde mu nsisinkano eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era wano Kamalabyonna awayizzaamu n’ekibinja ekiweredde ku Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala Nsekere.
“Amawulire ga Inebantu bwetwagafuna twasanyuka nnyo kubanga tubadde n’omukisa okulaba Isebantu ebbanga nga atwala obuvunaanyizibwa okukulembera Busoga naamaliriza emisomo natandika emirimu gye egy’okulamula Busoga nga tumulaba, Omuganda agamba nti eka wasaana mukazi nabba,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti olw’ekkula lino elya Busoga okufuna Inebantu kitegeeza mirimu gyakukulembera Busoga okutereera kubanga wabaawo omuntu anakakasa embeera ya Kyabazinga bulijjo n’okumuyamba okuyita mu kusomoozebwa.

Ono ategeezezza nti ensisinkano eno egendereddwamu okutaba Oluganda n’okulaga nti ebifa e Busoga bikwata butereevu ku Buganda era nga bwekityo kwekulaba bwebasobola okuwaayo ettu lya bukadde 20 mu mpeke, empewo ebalirirwamu obukadde 80 ku BBS Terefayina ate CBS empewo ya bukadde 14.
Wano Katikkiro Mayiga wasinzidde nasaba abantu okwagala ensibuko yabwe nga batandikira mu maka, ekyalo n’okwagala obuwangwa bwabwe olwo lwebajja okusobola okufuna Uganda ey’abantu abakolera n’okutambulira awamu nga bawang’ana ekitiibwa.
Ye Katuukiro wa Busoga, Dr Joseph Muvawala ategeezezza nti mu buwangwa obufumbo bwa babiri bano bwakakata nga kati kyebaliko kwekulaba nti babutwala mu maaso ga Katonda era nga bakkiriza nti obufumbo obulungi busibuka mu maka.
Dr. Muvawala agasseeko nti wakati ng’ensi ekyuka buli ddakiika ekintu abantu kyebasobola okusigaza bwe buwangwa bwabwe era nga mulimu gwa Bwakabaka n’Obwakyabazinga okubukuuma.
Ono yeebazizza olw’obuyambi bw’ensimbi awamu n’Obw’amawulire ku mikutu gy’Obwakabaka emitongole kuba gino akadde konna giwa abantu ebifa e Busoga ate mu butuufu bwabyo.









