• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka butongozza Ssemadduuka w’Ebyobulimi n’Obulunzi

Gambuuze by Gambuuze
February 23, 2026
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka butongozza Ssemadduuka w’Ebyobulimi n’Obulunzi
0
SHARES
6
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Buweekula

Obwakabaka bwa Buganda butongozza Ssemadduuka w’ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi mu Ssaza Buweekula ng’ono yasookedde ddala kw’ezo ssemadduuka 18 ezigenda okuteekebwa mu masaza ga Buganda gonna.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa y’akiikiridde Katikkiro mu kuggulawo ssemadduuka ono, atereddwa mu kibuga Mubende mu ggombolola Mumyuka Bagezza. Omukolo omunene gutegekeddwa ku Mayor’s Garden e Mubende.

Owek. Nsibirwa ategeezezza nti enteekateeka eno ey’okuggulawo ssemadduuka z’Obwakabaka mu masaza gonna egwira ddala mu nnamutaayika w’Obwakabaka owa 2023-2028 mu kiruubirirwa eky’e 11 eky’okutumbula omutindo mu byobulimi, ng’obungi bw’ebirime n’emmere bulinya ate nga bya mutindo wamu n’ekiruubirirwa eky’omusanvu (7) eky’okugoba obwavu mu bantu ba Buganda.

“Ebintu 3 ebikulu ebisoomooza abalimi mu Buganda; okubulwa amazzi ag’okufukirira, ettaka okukaddiwa n’ebbula ly’ensimbi naddala mu biseera by’okusiga, enteekateeka ya ssemadduuka ejja kuyamba abantu baffe okuvvuunuka ebsioomoozo bino” Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti Obwakabaka mu kukolagana ne Stanbic okutandikawo ssemadduuka ono ate Stanbic ewola abalimi ensimbi okuyambako mu kulima, enkolagana ne Akvo eyamba abalimi okufuna ebyuma eby’omutindo ebikozesebwa mu kufukirira, n’omulala ogwa Grain Pulse oguyamba okufuna ebigimusa ebiri ku mutindo.

Owek. Nsibirwa agamba nti mu nteekateeka y’Obwakabaka buli mwaka gw’ebyesimbi, ssemadduuka 5 ze zigenda okuzimbibwa era nga mu guno ogwa 2025/2026 kuliko; Buweekula ewedde, Mawokota, BuddAu, Bulemeezi. Akubirizza ekitongole ki BUCADEF okufuba okulaba nti enteekateeka eno egguka mu masaza ago 4.

Owek. Nsibirwa akubirizza Bannabuweekula okwenyigira mu buli nteekateeka Kabaka gy’abatusaako era abakubirizza okweyuna ssemadduuka ono basobole okulinyisa obungi bw’ebirimibwa n’omutindo nga mulungi.

Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obusuubuzi, Obwegassi n’Obuvubi Owek. Hajj Amisi Kakomo ategeezezza nti Ssemadduka ono aguddwawo okulaba nti abantu bafuna ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi eby’omutindo nga bibali kumpi ate nga bya bbeeyi ensaamusaamu. Ono akakasizza Bannabuwekula nti bagenda kuweebwa obuweereza obulungi.

Owek. Kakomo yebazizza Obwakabaka olw’okuteeka amaanyi mu nteekateeka eno, yebazizza eggwanika lya Buganda. Yebazizza bonna abaliko kye bakoze okulaba nti ssemadduuka ono amalirizibwa ate nga wa mutindo.Yebazizza Bannamikago bonna abawagidde omulimu guno.

Omwami w’Essaza Buweekula, Luweekula Ssempijja Andrew Mukasa yeyanzizza Maasomoogi olw’okuwagira omutindo gw’Ebyobulimi mu Buweekula ng’ayita mu nteekateeka ez’enjawulo omuli okuteekayo ssemadduuka agguddwawo ate nga yawaayo ne tulakita mu ssaza lino gy’agambye nti egasizza nnyo abantu be n’okutumbula ebyobulimi.

Omuk. Dr. Ben Muyinza Ssekamatte Ssentebe wa bboodi ya BUCADEF, ategeezezza nti BUCADEF nga yesigama ku nteekateeka nnamutayiika y’Obwakabaka 2023-2028 etunuulira ekitongole kino okunonya Bannamikago okwongera okutumbula ebyobulimi, abantu balime mu nnima ey’omulembe, obungi bw’ebirimibwa bweyongere n’okutumbula obweggasi, ategeezezza nti ebiruubirirwa bino bikwasiddwa maanyi.

“Emigaso gya ssemadduuka gikwata ku buli muntu kubanga omuntu ky’alya ky’ali, kale abalimi n’abalunzi bwe bakozesa ebintu eby’omutindo, abantu abalya ebirimiddwa oba ebirundiddwa bafuna ebisinga obulungi.” Dr. Ssekamatte. Ono awadde obweyamu nti byonna ebigenda okukkirizibwa okutundibwa mu ssemadduuka z’Obwakabaka zonna bigenda kuba ebyo ebikakasiddwa ebitongole ebivunanyizibwa ku mutindo.

Dr. Ssekamatte ategeezezza nti abalimi n’abalunzi bajja kulungamizibwa ku nkozesa entuufu eya byonna bye banaagula mu ssemadduuka z’Obwakabaka. Kino kigendererwamu okutaasa abalimi ku kabi akayinza okuva mu kukozesa obubi eddagala lino.

Omw. Tunde Thorpe akulembeddemu aba Stanbic bank bannamukago n’Obwakabaka mu nteekateeka eno, agamba nti nga bajaguza emyaka 35 benyumiriza mu kusitula embeera z’abantu era alaze essanyu okuba nti ne ssemadduuka ono atongozeddwa okwongera okugasa abalimi, ategeezezza nti basuubira enteekateeka eno egenda kwongera okusitula embeera z’abantu. Ono anyonnyodde nti nga bayita mu nkola flex pay baagala okwanguyiza abalimi mu kutambuza ensimbi, okwewola n’okugula ebikozesebwa ebibaleeteddwa.

Stanbic bank esuubizza okuwagira SACCO ezisoba mu 200 okutumbula ebyenfuna naddala okusitula abakyala n’okumalawo ebbula ly’emirimu mu bavubuka okuyita mu by’obulimi n’emirimu egiva mu busuubuzi, okutaasa abalimi abakosebwa embeera y’obudde ekyukakyuka. Ono agamba kati tebakyawagira buwagizi mirimu gya Bwakabaka kyokka wabula bakola emikago egy’okutumbula embeera z’abantu.

Omukolo gwetabiddwako Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannamikago, abakungu mu Gavumenti ya wakati n’abantu ba Buganda ba Buganda ab’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.