• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka butongozza olukiiko oluteesiteesi olw’ebijaguzo by’Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 71

Gambuuze by Gambuuze
March 11, 2026
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka butongozza olukiiko oluteesiteesi olw’ebijaguzo by’Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 71
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo y’atongozza olukiiko olunakulembera okuteekateeka emikolo gy’amazalibwa ag’emyaka 71, omukolo omukulu gwa kubaawo nga 13/04/2026 mu eklesia y’Abasoddokisi e Namungoona.

Oweek Kaawaase ategeezezza nti okukuza olunaku Kabaka lwe yazaalibwa kigendererwamu okuggumiza obukulu bw’obuwangwa bwa Buganda

“Olunaku lw’amazaalibwa ssi lwa bulijjo nti tukuza bukuza mazaalibwa nedda, era bwe tuba tukuza olunaku olwo tugyayo ebintu ebikulu, okuggumiza ekinyusi ky’obuwangwa bwaffe era tuba twoleka ekitikkiro kyaffe nga ye Ssaabasajja Kabaka Namunswa” Oweek Kaawaase.

Prof. Kaawaase anyonnyodde nti okujaguza amazaalibwa ga Kabaka kugendererwamu okunyweza ennono, empisa n’obumu mu bantu ba Kabaka n’ekigendererwa ky’okutangaaza ebiseera bya Buganda eby’omumaaso. Wano yeyanzizza Kabaka eyasiima wabeerengawo emisinde egikulembera amazaalibwa ge, ate n’alagira ensimbi ezivaamu ziteekebwe mu kutumbula ebyobulamu mu bantu be. Ono akoowodde abantu okugula emijoozi gy’emisinde mu budde baleme kusumbuyibwa mu biseera ebisembayo.

Owek. Kaawaase ayanjudde olukiiko olukulembera Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, amyukibwa Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne bammemba abalala ku ludda lw’Obwakabaka ate ku ludda lw’ekkanisa Ssentebe ye Rev. Fr. Dr. Nicholas Ssekamwa Bayego, ddiini wa Lutikko y’e Namuŋŋoona, n’eno waliyo bammemba abalala.

Ssentebe w’Olukiiko ayanjuddwa Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ye Minisita w’enkulakulana y’abantu ne woofiisi ya Nnaabagereka, ku lwa banne balondeddwa nabo yeyamye nti bagenda kutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu era nti baakuggusa omulimu ogubateeredwa mu maaso mu mbeera eweesa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa nga bakozesa obumalirivu bwonna obwetaagisa.

Ku lwa Ssentebe w’oludda olw’eklesia y’Abasoddokisi, Omw. Katamba Nicholas amukiikiridde anyonyodde nti bbo nga aba eklesia y’aba Orthodox balina essanyu lingi okuweebwa omukisa okuteekateeka okusaba kw’okujaguza amazaalibwa ga Beene, era nti ebbugumu lingi mu bbo era n’ebitebe by’eklesia byonna byategezeddwa ku nsonga eno nga balinze lunaku lwokka.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yazalibwa nga 13/04/1955 ekitegeeza nti omwaka guno 2026 ajja kuweza emyaka 71.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist