Musasi waffe
Obwakabaka busse omukago n’aba International Medical Link okutandikawo yinsuwa (Insurance) y’okuwa obujjanjabi eri abantu ba Kabaka.
Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yataddeko omukono ku lw’Obwakabaka, ate Dr. Mugenyi Possy nassaako ku lwa International Medical Link.
Yinsuwa eno yakuganyulwa abantu ku buli mutendera okusinziira ku nfuna yaabwe.