Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bulambise abayizi okwekubiriza okusoma kubanga ky’ekimu ku biraga obuyigirize omuntu yenna bw’afuna mu ssomero.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko obubaka buno abuwadde asinziira mu bijaguzo by’olunaku lw’okusoma ebitabo mu nsi yonna Obwakabaka bwe lukulizza ku ssomero lya Ssaabasajja Kabaka erya Lubiri Nnaabagereka Primary School erisangibwa mu Lubiri e Mmengo.

Minisita Choltilda akubirizza abayizi okwekubiriza okusoma kubanga ky’ekimu ku biraga obuyigirize omuntu bwe yafuna nga akyali mu ssomero. Wano attottodde ebyafaayo by’olunaku luno olw’omuwendo olukuziddwa.
“Olunaku luno lukuzibwa olw’omuntu eyawaayo obulamu bwe nga awandiika n’okusoma obutabo mu kakkalabizo ly’ebitabo lye yakolangamu Muky. Beverly Cleary nga kigambibwa obutabo bwe obukadde 91 bwe bwatundibwa okwetolola ensi yonna,” Oweek. Choltilda.
Oweek. Nakate era asinzidde wano ne yebaza Ssekabaka Muteesa olw’okukkiriza Abaminsani abajja wano ne baleeta ebyenjigiriza ebikyusiza obulamu bw’abantu mu ggwanga lino. Minisita alambuziddwa ebibiina by’abayizi eby’enjawulo okuviira ddala ku kibiina kya nnasaale okutuuka ku kibiina ekisembayo nga wano abayizi bazze bamusomera obubaka obuli mu bitabo eby’enjawulo.
Okukuza olunaku lw’okusoma mu nsi yonna kwabaddewo nga 12 omwezi guno nga Obwakabaka bulukuziza leero wansi w’omulamwa “Ssuula buli kimu kyolina osome” (Drop Everything and Read) era abayizi balambikiddwa nnyo okukola ekisoboka okusoma bategeere olwo bafuuke abantu ab’enjawulo mu nsi.
Ssenkulu w’essomero lino Omuk. Kalyesubula Christopher asabye abayizi okwesunako olw’okukyaza minisita wa Kabaka ku lunaku olukulu bwe luti era abasabye baddeyo bateegeze bazadde baabwe ku kukyala kuno okugendereddwamu okukyusa obulamu bwabwe.

Minisita Nakate atambudde n’omuyambi we mu minisitule gy’akulembera ate nga naye omu ku bayizi abasomerako ku ssomero lino Mw. Yusuf Katabira ng’ono asabye abayizi okwefumitiriza ku kusoma kwabwe n’okutambulira ku mulamwa gw’essomero ogw’okubeera ekitangaala mu nsi yonna.









