
Bya Ssemakula John
Namirembe – Kyaddondo
Obwakabaka bukungubagidde abadde omukiise w’Olukiiko lwa Buganda, Dr.Jack Mukiibi Luyombya kati omugenzi era nebutendereza obukozi, n’omukwano gwabadde alina eri Obwakabaka ne Ggwanga lye .
Obubaka buno Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule naabusomera abakungubazi abakungaanidde ku Lutikko e Namirembe ku Lwokusatu okusabira omugenzi.
Mu bubaka bwe Katikkiro Mayiga asaasidde famire ya Dr.Mukiibi olw’okuvirwako omuntu wabwe ow’obuvunaanyizibwa.
Ono atendereza omugenzi nga omuntu abadde omukozi era ayagala ennyo Kabaka we awamu ne Buganda ng’ono agasseeko ettofaali ddene nga ayita mu buweereza bwe.
Ku lwa gavumenti eyawakati Hajji Moses Kigongo omumyuka asooka owa Ssentebe wa NRM amwogeddeko nga omuntu abadde ayagala eggwanga lye era alina ettofaali eddene lyagasse mu kisaawe ky’ebyobulamu.
Aba Famire y’omugenzi nga bakulembeddwamu Mary Lillian Nabunya muwala w’omugenzi wamu nab’enganda abalala beebaziza kitabwe olw’okubakuza obulungi n’okubateekateeka nebafuuka abantu abalimu ensa.
Katikkiro w’Ekika ky’Olugave, omutaka Natigo Godfrey Katende ayogedde ku mugenzi nga omuntu abadde ayagala obuwangwa bwe kwosa n’Ekika kye.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo okubadde ba Nnalinnya,ba minisita mu gavumenti ya Ssaabasajja, abakulembeze mu gavumenti eyawakati, Abataka abobusolya , ba Katikkiro abawummula, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda n’abantu abalala.
Kinajjukirwa nti Dr.Jack Mukiibi Luyombya abadde omukiise mu Lukiiko lwa Buganda era yavudde mu bulamu bwensi eno ku Bbalaza ya Ssaabiiti eno.









