Bya Saava Kevins Kanyike
Entebbe-Busiro
Mu kaweefube w’okukuuma ebyalo nga biyonjo Minisitule ya Bulungibwansi ekulirwa Minisita Mariam Nkalubo Mayanja ettongozza wamu n’okulemberamu okuyonja oluguudo Nebalamye Mayanja oludda e Naggalabi Buddo, mu ggombolola ya Ssabagabo Nsangi mu ssaza Busiro.

Minisita Nkalubo asinzidde mu Bulungibwansi oyo n’alaga obwenyamivu ku bantu b’omulembe guno abafubye nga bwebasobola okusanyawo emiti.
“Abantu b’omulembe Omutebi tuwalanye emiti oba tugiraba nga siriimu oli ne bw’alaba nga omuti gumezeemu katono akwata bukwasi jjambiya n’agutema n’azimbawo ennyumba kale singa tukoppa ab’ebweru ne tuzimba nga tugyetoloola netutagitema naye nga tukuuma emiti egiriwo, lwe tunaasobola okusimba emipya” Minisita Mayanja bwanyonyodde.
Oweek. Nkalubo Mayanja asabye abantu abetabye mu Bulungibwansi ono okukwata obulungi obuveera n’obucupa kuba babyeyambisa mu bulamu bwabwe obwa bulijjo kale nga bano abakuutidde obutabisuulasuula buli we bazanze kuba by’onoona obutondebwensi.
Minisita Mayanja akubirizza abayizi b’amasomero agatali gamu abeetabye mu ddimu lino okufuba okuyonja ebitindu mwe bawangalira naddala awaka we babeera wakiri, nga tebamansa buveera na bucupa nga banyiikira okuba abaana abayonjo.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro Charles Kiberu Kisiriza akuutidde abantu ba Kabaka bulijo okukuuma obulungi emiti egisangibwa mu bitundu ebitwalibwa okuba eby’ennono bwatyo n’asaba abavubuka okwettanira emirimu gy’Obwakabaka.
Omumyuka Owookubiri owa Ssebwana Kayongo Vincent alaze nti okukola Bulungibwansi ow’omuggundu kisaana kikolebwe nga buli mwezi kale n’asaba bannabusiro okujjumbira enteekateeka etongozeddwa.

Akulira ekitongole kya Bulungibwansi mu ssaza Busiro Omumbejja Zalwango Victoria agambye nti baakufuba okunyikiza enkola ya bulungibwansi okutandikira ddala mu kusimba miti emito.
Okukola bulungibwansi kwetabiddamu meeya owa Kyengera town Kanso omulonde Ssemugera Joseph Bitokote, abaami ba Kabaka ku mitendera ejenjawulo, abakulembeze b’essaza ly’e Busiro, abayizi b’amasomero ssaako abantu abalala bangi era nga n’emiti egy’enjawulo gisimbiddwa.









