Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abaana abato okubeera abavumu n’okwekkiririzaamu okusobola okutuuka ku buwanguzi mw’ebyo bye bakola.

Obubaka buno abuweeredde mu Bulange bw’abadde asisinkanye Serena Abigail Nankabirwa Makumbi eyawangula empaka za Nnalulungi wa Uganda mu baana abato (Little Miss Uganda). Amwebazizza olw’okuba omuvumu ky’agambye nti ky muyambako okuwangula era ne yebaza ne bazadde be okumuwagira.
“Abantu bangi obulamu bubalema kubanga benyooma, abamu batya okuvuganya kubanga batya nti bajja kuwangulwa, ekiyamba omuntu okuwangula mu Nsi bwe buvumu obumuyamba okukola eby’amaanyi bingi” Owek. Mayiga.

Wano Owek. Mayiga akubirizza abazadde okuwagira abaana baabwe mu kukuza ebitone byabwe bibayambe okutuuka ku buwanguzi. Awadde ebyokulabirako eby’abantu nga ba Nandujja, Lupita ow’e Kenya, n’abalala abafunye mu bitone n’asaba abazadde obutanyooma bitone.
Serena Nankabirwa asanyuse nnyo okusisinkana Katikkiro wa Buganda, agamba nti ekyamuwaliriza okwetaba mu kuvuganya ku bwa nnalulungi kwe kulaga obusobozi bwe mu kukola eby’amaanyi era ategeezeza nti ayagala okukola kaweefube w’okukwasizaako baana banne n’ebikozesebwa ku ssomero.
“Buli mwana agwana okufuna omukisa okusoma ate n’asoma bulungi kyokka abaana bangi balemererwa olw’okubulwa ebikozesebwa ku ssomero oba bamu nga tebibamala, njagala okukozesa engule yange okubasakira mbawagire” Nankabirwa.

Nankabirwa ku bugenyi bwe buno eri Katikkiro awerekeddwako Nnyina, muto we n’abooluganda lwe abalala ate ye Katikkiro abadde ne Minisita Israel Kazibwe Kitooke









