• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obusawo kuyitibwa, ssi mulimu kyokka – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
December 18, 2025
in Amawulire
0 0
0
Obusawo kuyitibwa, ssi mulimu kyokka – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
7
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Mayiga akubirizza abasawo obutakulembeza ssente wabula obuweereza mu mulimu gwabwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga okwogera bino abadde asisinkanye abayizi abegattira mu kibiina ki ‘Federation of Uganda Medical Students’ Association’ bakyaddeko Embuga nga bali ne bannaabwe okuva mu mawanga amalala abasoma obusawo okuva mu ggwanga lya Sierra Leone ne Zimbabwe abazze mu Uganda okwetaba mu lukungaana lwa African Regional Meeting wansi w’ekibiina ekivatwala ki International Federation of Medical Students’ Association’.

Katikkiro bano abannyonnyodde obukulu bw’omulimu gwe basomerera ng’akikaatiriza nti omulimu gw’obusawo gwa kuyitibwa kale nga kisaanidde abo abaluubirira okugwegatako okuba n’obwagazi bw’okuwereza abantu.

“Obusawo ssi mulimu bulimu gwa bulijjo wabula kuyitibwa, omuntu yenna ayagala okutaasa obulamu y’asaana okusoma obusawo, omuntu ateekwa okukiwulira mu mmeeme ye nti ayagala okutaasa n’okuwanirira obulamu olwo n’agenda n’asoma obusawo kuba bwawukana ku mirimu mingi” Oweek Mayiga bwanyonyodde.

Owoomumbuga abayizi bano abawabudde obutatwalirizibwa nsimbi wadde abasawo abamu tebakolera gavumenti ekiretawo obwetaavu bw’ensimbi mu bulamu bwabwe, wabula agamba nti mu kuweereza obulungi, omuntu yenna oluvannyuma afuna ensimbi mw’ekyo ky’akola.

Kamalabyonna abasawo bano abasuniddeko ku nkola y’Obwakabaka mu byobulamu; ababuulidde ku nteekateeka enkumu Ssaabasajja z’akolera abantu be okuli; okukkiriza okufuuka omumuli mu kulwanyisa mukenenya mu Africa yonna, okuzimba amalwaliro, okukubiriza abantu okwegemesa endwadde zinnamuta n’ebirala era wano Katikkiro bano abanyonyodde nti Buganda y’Omulembe Omutebi esoosoowaza ebyobulamu. Bwatyo abeebazizza okusalawo okuyingira obuweereza buno.

Dr Isaac Kiwumulo Ssekajja akulembeddemu abayizi bano awozezza olutabaalo lw’olukungaana lwa Africa Regional Meeting olukunganya abayizi abasoma obusawo wamu n’abasawo buli mwaka nga ensi emu mu Africa erondebwa okutegeka olukungana luno, ku mulundi guno, Uganda ye yalondebwa okutegeka nga olukungaana lubadde ku nsonga nnyingi eziteekeddwako omulaka nga zikulemberwa okulafubanirwa obulungi, obuweereza obw’ekikugu mu mulimu gw’obusawo n’ebirala.Ono

Ono agamba nti basanyukidde nnyo eky’okubaaniriza Embuga kubanga baayagadde nnyo bannaabwe abazze kuno babeeko eby’enkizo bye bamanya ku Uganda naddala nga basoosowaza Buganda.

Ensisinkano eno yetabiddwamu Baminisita; ow’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, ow’Abavubuka Owek. Robert Serwanga Ssaalongo n’owekikula ky’abantu Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.