Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okwetoloola Obuganda basanyukidde ekya Gavumenti ya wakati okuddiza leediyo ya CBS FM layisinsi yaayo gyeyali yatwala emyaka 14 egiyise nga egamba nti yakuma omuliro mu bantu ng’Omutanda agaaniddwa okugenda e Bugerere mu 2009.
Minisita w’Ebyempulizigannya awamu ne Tekinologiya Chris Baryomunsi yagikwasizza Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe ku kitebe kya @UCC_Official e Bugoloobi mu Kampala leero ku Lwokusatu.
Kitegeerekese nti Obwakabaka buzze bwogerageranya ne gavumenti okukomyawo layisinsi eno, nga ne mukusoma embalirira y’omwaka gw’ebyesimbi omugya mu bwakabaka, omuwanika w’obwakabaka Owek Robert Waggwa Nsibirwa ensonga yokuddiza leediyo eno layisinsi yaayo yagiteekako nnyo essira.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu mu Bwakabaka, Owek. Israel kazibwe Kitooke asanyukidde ekya leediyo eno kuddizibwa layinsi yaayo kyagamba nti kyakuyamba nnyo okutumbula empereeza mu bwakabaka era nakubiriza abantu bonna mu ggwanga okujjettanira, era bakolagane nayo okutumbula emirimu gyabwe.
Ye Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe agamba nti leediyo ya Beene efiiriziddwa byansuso okumala emyaka 14 gyemaze nga terina layisinsi nakinogaanya nti okugikomyawo kyakwongera okugaziya emikisa gya leediyo eno mu kisaawe ky’emirimu.
.