
Bya Shafic Miiro
Ndeeba – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akubirizza abafumbo bulijjo okuwa obufumbo omusingi omuggumivu bwebaba baagala okubuwangaaza.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abutadde mu kiwandiiko kyatisse Owek. Noah Kiyimba amukiikiridde ku mukolo omwami n’Omukyala Kabugo Charles, kwebajaguliza emyaka 50 nga bali mu bufumbo obutukuvu ku Lutikko e Lubaga mu mmisa eekulembeddwamu Rev. Fr. Lawrence Mukasa.
Owek. Mayiga ategeezezza nti okutuuka ku myaka gino kubaamu okuyita mu bisoomoozo bingi ddala, wabula abafumbo ababiri balina okubisalira amagezi, kubanga obuwanguzi kuva mu kutegeera kizibu, olwo n’okinogera eddagala wabula si ku kikungiriza.
Kamalabyonna yeebaziza abafumbo bano olw’okubeera eky’okulabirako kirungi eri abafumbo naabo abalindiridde okuwasa, kubanga bakuzizza bulungi abaana okuli n’omusaselodooti Rev. Fr. Dennis Warren Kibalama.
Ono era yeebazizza abajaguza olw’okukolaagana obulungi n’abantu, okugunjula abaana wamu n’obugumiikiriza bwatyo abaagaliza emikisa gya Katonda ne mu biseera byabwe ebiddako.
Akulembeddwamu ekitambiro kya mmisa, Rev. Fr. Lawrence Mukas avumiridde eky’abavubuka okutya ate n’okutiisa abalala obufumbo naabasaba okumanya nti obufumbo bwajja bwajja era sibwakuvaawo.
Bwatyo yeebaziza abafumbo olw’okunyweza obufumbo bwabwe bwagambye nti okubutuusa ku myaka 50, tekitegeeza nti tewabadde bisoomoozo wabula basobedde okubiwangula kubanga ennyumba eyaabwe bagizimba ku lwazi nga ne kibuyaga tagiyuuza. Era bano abeebazizza olw’okutegeera Katonda abatuusiza ku kkula lino.
Ono asinzidde wano naasaba abantu okwewala ebikolwa ebitali bya buntu nga ebirabikira mu Mawulire ng’abantu bakola obufumbo n’ebisolo era lino aliyise ddalu.
Kinajjukirwa nti ababiri bano Charles Kabugo ne Gladys Nakabuye bagattibwa mu 1974, ebijaguzo bino eby’emyaka ataano byetabiddwako mukwano gyaabwe mingi n’abakungu ab’enjawulo.
Emmisa eno yeetabiddwako Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitoleeko Ssaalongo, Oweek. Gabriel Kabonge, Kayima Omwami wa Kabaka ow’Essaza Mawokota, ne Mukyala we, Abakungu ab’enjawulo n’Emikwano era okusaba oluwedde bano nebagabula abagenyi ku kabaga akategekeddwa ku Pope Paul Memorial Hotel mu Ndeeba.









