
Twegatta n’abantu mwenna okwebaza Katonda olw’ebirungi by’atukoledde n’okusingira ddala obulamu. Tubaagaliza okukuza ennaku enkulu n’omwaka omuggya ogw’emirembe. Tubasaba okwongera amaanyi mu buli kye mukola kitusobozese okubeera n’obuwanguzi.
Essala zammwe, Mukama azaanukule era kati tuzze buggya mu Bulamu ne mu ntegeka zaffe zonna. Temuggwamu maanyi. Ensi yetaaga abavumu abalengera amangu ebitujja ku mulwamwa. Abavubuka tubakubiriza obutassa kintu kyonna mu nkola nga temwetegeraza oba okwebuuza ku bantu bakulu. Tulafuubane okwezza obuggya, nga twemalira mu kunyweza ennono n’empisa zaffe ezitunywereza awamu.
Enteeseganya ezibeera mu palamenti yaffe ziremu kuggweera mu bigwo. Kinno kitwennyamiza nnyo okulaba nga gye tusuubira obwenkanya n’ebirowoozo ebizimba eggwanga, waliyo ntalo! Empisa eno etuuse ne mu nkiiko endala eza gavumenti ez’ebitundu etweralikiriza nga twebuuza, anti ebitwesebwa bituyamba oba biyamba wa maanyi yekka?
Enteeseganya ezifaanana bwezityo, ziraga nti, waliwo okunyigirizibwa era okwetaaga okugonjoola awatali kusobola wadde okunyigiriza bekitundu omubaka aleese ekiteeso gy’asibuka.
Omwaka omuggya 2025, twetekerateekera okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy’enjawulo. Tusaba okwenyigira mu nteekateeka zino, kyokka nga temwerabidde nti twagala abakulembeze abalina omwoyo gw’eggwanga era abanaatambuza Obwakabaka bwaffe mu Uganda eyawamu.
Tufubirire okukola ennyo, okwejja mu bwavu, tetusa mukono mu kusimba emmwanyi n’ebirime ebirala ebyettunzi, naye nga temwerabidde nti omuyaga gujja kukka. Mwongere okutusabira mu bukulembeze ne mu bulamu.
Tubagaliza Amazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristo nga tuluubirira okwezza omuggya mu buli kimu. Omwaka omuggya gubeere gwa bwebuulirira. Twongere okwefumitiiriza ku kirungi n’ekibi.
Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA









