
Bya Ssemakula John
Masengere
Omwogezi w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Joel Ssenyonyi agamba nti tebafunye kuyitibwa kwonna okubasaba okwegatta ku kisinde kya People’s Front for Transition (PFT), ekyatongozeddwa eggulo nga kikulira Dr. Kizza Besigye.
Ssenyonyi yannyonnyodde nti enteekateeka zonna ezigezaako okunafuya Pulezidenti Museveni bazaaniriza naye tebateekeddwa kwegatta ku kisinde kino mu buwandiike, wabula basobola okukolera awamu.
Ono yategeezezza nti tebaayitiddwa ng’ekisinde kino kitongozebwa wabula n’alaga nti kino si kikulu kuba ebigendererwa byabwe bye bimu.
Kino kiddiridde abamu ku bannabyabufuzi n’ebibiina ku ludda oluvuganya okukola ekisinde ekiggya kye bagamba nti kye kigenda okusiguukulula Pulezidenti Museveni mu ntebe ng’omwaka 2026 tegunnatuuka.
Ekisinde kino ekipya kirina akakiiko akeebuuzibwako era buli kibiina ekiri mu kisinde kino kirinako bammemba bataano era kino kirimu ababaka okuva mu bibiina ebyenjawulo ng’oggyeeko NUP ne DP.
Okusinziira ku bakulu mu kibiina kino, Omuloodi Erias Lukwago ye yalondeddwa ng’omumyuka wa Ssentebe waakyo mu ggwanga lyonna era ono yannyonnyodde nti omuntu yenna alina ekigendererwa ng’ekyabwe ayanirizibwa.
Omuloodi Lukwago agamba nti ekikulu ku kisinde kino si kugabana bifo naye kulaba ngeri gye basobola okuwangulamu akalulu.
Bwe yabadde ayogerako eri abakungaanidde ku mukolo guno, Patrick Oboi Amuriat yagambye nti ekiseera kituuse bakolere wamu n’asaba NUP okubeegattako bwe baba baagala okusigala n’enkizo mu by’obufuzi by’e Uganda.









