• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

NUP ezzeemu okusunsula abanaakwata bbendera mu Buganda

Gambuuze by Gambuuze
October 1, 2020
in Amawulire
0 0
0
NUP ezzeemu okusunsula abanaakwata bbendera mu Buganda
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kamwokya

Ekibiina kya National Unity Platform, olwa leero kizzeemu okusunsula abanaakwata bbendera ku bifo ebikyaliko kalumanywera mu Kampala, oluvannyuma lw’okufulumya enkalala z’abaafunye kkaadi naye byo nebirekebwa nga bikalu.

Kansala Muhammad Ssegiringa nga ali mu maaso g’akakiiko

Ebifo ebiriko embiranye kwe kuli eky’omubaka wa Kawempe North, Kawempe South, Makindye West, Lubaga North, Bujumba, Bukoto South, Bukoto Mid-west, Bukoto West, Bukoto South n’ebitundu ebirala.

Abamu ku bakedde ku kitebe kino kubaddeko Sipiika wa KCCA, Kawalya Abubaker ng’ono avuganya n’Omubaka Moses Kasibante, Muhammad Sseggirinya ng’ono avuganya Sulaiman Kidandala, Munnamawulire Kazibwe Bashir ng’ono avuganya ne Roy Ssemboga n’abalala.

Abasunsuddwa omulundi ogwokubiri basanyukidde ekyabakulu mu kibiina okuteekawo akakiiko akapya kubanga abamu ku beesimbyewo babadde babalumiriza okubaako be battira ku liiso.

Kkansala Muhammad Sserigginya ayagala Kkaadi ya Kawempe North olumaze okusunsulwamu n’ategeeza nti kkaadi agimaze.

“Okusunsulamu tekulina mutawaana, bakubuuza ebibuuzo okulaba oba ensonga ozitegeera naddala mu mirimu gy’omubaka wa Palamenti n’okulaba oba amateeka ogategeera.” Sseggirinya bw’ategeezezza.

Sseggirinya agambye nti singa abeera taweereddwa kkaadi, mwetegefu okugenda n’ekisaliddwawo ekibiina kubanga ekigendererwa ekinene kyakuteeka Bobi Wine ku bwapulezidenti.

Ye Munnamawulire Kazibwe Bashir nga yeegwanyiza kkaadi ya Kawempe North, yategeezezza bannamawulire nti ku luno alina okukkiriza nti yagenda okuweebwa kkaadi.

Ate ye Roy Ssemboga, ali ku mbiranye ne Kazibwe, agambye nti ababadde bababuuza bapya era ng’ebibuuzo bye byonna abisse kubanga y’omu ku batandisi ba People Power

Ssemboga yagambye nti tayagala kuweebwa kkaadi lw’ebyo by’akoze wabula batunuulire obusobozi bwe.

“Tujja mu lutalo luno si lwa bifo, nze natandika olutalo luno nga People Power tennaba kutandikibwawo,” Ssemboga bwe yagambye.

Ayagala eky’omubaka omukyala owa Masaka disitulikiti, Nakiyemba Harriet Ssebuufu, agambye nti oluvannyuma lw’okuddamu okusunsulwa, alina essuubi nti kkaadi agenda kugifuna kubanga b’avuganya nabo abasinga.

“Bwenaaba siramuddwa mu bwenkanya, nja kulaba kye nzizaako kubanga nze ntunula mu ggoolo mwe ntemba,” Nakiyemba bw’annyonnyodde.
Kati ekirindiriddwa lwe lukalala olugenda okufulumizibwa nga lujjuza ebifo bino oluvannyuma lw’okuddamu okwekenneenya abeesimbyewo bano.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.