• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Nnaabagereka Development Foundation evuddeyo okutumbula embeera z’abavubuka

Gambuuze by Gambuuze
March 16, 2026
in Amawulire
0 0
0
Nnaabagereka Development Foundation evuddeyo okutumbula embeera z’abavubuka
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation kyanjudde ebbago ly’okukulaakulanya abavubuka mu Buganda eri abaweereza abali ku ddaala ery’ekikugu mu minisitule ezikola gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.

Ekigendererwa ky’ensisinkano eno kya kufuna birowoozo okuva mu baweereza bano okulaba bwe biyambako mu kukola ebbago ly’okusitula embeera z’abavubuka nga bafuna okutendekebwa okw’enjawulo okusobola okusitula embeera zaabwe naddala mu kwetandikirawo emirimu ne basobola okweyimirizaawo.

Enteekateeka eno eyanjuddwa Ssenkulu wa Nnaabagereka Development foundation, Omukungu Andrew Adrian Mukiibi ku Bulange e Mmengo n’annyonnyola nti ebbago lino litunuulidde ebisomoozo ebiri mu bavubuka naddala ku nnyingiza yaabwe ey’ensimbi okuyambibwako okutuukiriza ebirooto byabwe mu bulamu.

Omuk. Mukiibi alaze nti enteekateeka eno yakumala emyaka etaano (5) nga yakukomekkerezebwa mu 2030 kyokka akubirizza buli muvubuka okufuba okulaba nga enteekateeka eno temuleka mabega asobole okugiganyulwamu.

Minisita w’abavubuka emizannyo n’ebitone, mu Bwakabaka Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo asinzidde mu lukungaana luno n’asaba abaweereza okuzimba emiwaatwa egiyingiza n’okwagazisa abavubuka naddala mu nteekateeka ezibakulaakulanya wansi w’emirimu egikolebwa mu minisitule ez’enjawulo n’ekiruubirirwa eky’okubayamba okusuumuuka mu mbeera zaabwe.

Minisita Sserwanga annyonnyodde nti ekisinga okulemesa abantu okutandika mu nsi y’okukola kwe kutya, n’olwekyo baagala okugyamu okutya mu bavubuka nabo batambulire mu Nsi y’okwekulaakunya babeeko eddaala lye batuukako.

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro, Omuk. Nantege Josephine Ssemanda alaze nti wadde okukyusa embeera z’abavubuka kulabika nga okuzibu mu kyasa kino, naye Obwakabaka bumalirivu okutema emiwatwa okuziba ekituli ekiriwo.

“Okukyusa obulamu bw’abavubuka kirabika nga ekizibu naye tukungaanye nga abaweereza wamu n’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation tutumbule omuvubuka ave mu bizibu bye tumanyi, ffe abaweereza ku ddaala ly’ekikugu twanjuliddwa ebbago eritegekedwa obulungi ku butya bwe tuyinza okukola enteekateeka ey’awamu okulaba nga tuddaabulula embeera z’abavubuka mu Buganda era tukubaganyizza ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo n’etwewa amakatala ag’enjawulo okusinziira ku buli minisitule byekola okulabanga bavaayo ne polojekiti ez’enjawulo okutuula mu pulogulaamu ey’awamu etegekeddwa Nnaabagereka Development Foundation”, Omuk. Nantege Josephine.

Ebbago lino likyali mu bubage era ebirowoozo okuva mu bakugu ab’enjawulo bikyawulirizibwa oluvannyuma litwalibwe mu Kabineeti awo liteekebwe mu nkola.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.