Ssaabasajja Kabaka gyebuvuddeko yasiima n’awummuza Omutaka Kayiira Gajuule ku buvunaanyizibwa bw’omukubiriza w’Abataka era n’alonda omukubiriza omuggya nga ye mutaka w’ekika ky’Ekkobe, Jjajja Namwama Augustine Kizito Mutumba. Leero omusasi waffe, Gladys Nanyombi awayizzaamu naye nasuubiza okulwanirira ekitibwa ky’Abataka wamu n’Obutaka bw’ebika eby’enjawulo.
Omukubiriza omuggya y’ani?
Nze Omutaka Augustine Kizito Mutumba. Nzaalibwa omugenzi Micheal Male agalamidde e Mawokota, nva mu Namwama Muwakanya agalamidde e Buzima. Mmange ye yali Teopista Nakibuuka, mu butongole nva mu luggya lwa Zifulani Kizito.
Mbeera Nabbingo mu ssaza lya Kabaka e Busiro era ndi Ssaalongo era emirimu ngikolera mu Makerere University mu kitongole ekisomesa abasawo b’abantu. Ndi mukulembeeze w’ekika ky’Ekkobe naye abamu bamanyi nti naakatandika okukola n’ekika ky’Ekkobe.
Ggwe watandika ensonga z’omusango gw’ekika ky’Ekkobe ezaali mu kkooti ya Kisekwa?
Natandika okukola n’ekika ky’Ekkobe nga njiga ebifa ku kika kyange, kati mu 2001 ensonga ezaali mu kkooti ya Kisekwa nali nzigoberera naye nga siri ku mwanjo gwazo.
Omusango gwasalibwa era newabaawo abansemba okubeera omukulu w’ekika. Banteeka mu kasengejja mu 2001 era bwentyo nenyigira olukiiko lw’Abataka nendutuulamu okutuuka mu 2004.
Bannaffe omusango gwe gwali gusinze baajulira ewa Ssaabasajja era n’annyimiriza okutuula mu lukiiko okutuusa omusango gw’okujulira kwabwe bwe gwasalibwa mu 2018 era bwentyo nenkomawo mu lukiiko.
W’ojjidde nga waliwo ekizibu ky’abazzukulu abatunda embuga z’ekika, ogenda ku kikwata otya?
Ensonga y’okutunda embuga egulumbizza bangi ate tebatunze butaka bwokka naye batunze n’ettaka lya Kabaka ery’amagombola n’amasaza. Abantu twaggwaamu ensa kati abantu buli omu ayagala kusika kyasika.
Ekikulu kya byonna, tulina okugoberera ettaka lyaffe kubanga olumu lituggyibwako nga tetumanyi, okugeza mu kika ky’Ekkobe, ettaka lyaffe ery’e Buwama ne Buzimwa, abasajja bazze balitunda naye kye tusoose okukola kwe kusooka okumanya liyita ludda wa, lyenkana wa?
Tugenda kunyweza enkola ey’okuliwandiisa n’abayima abasobola okulikuuma, nkikakasa nti kino kiyamba kuba enkola eno bannaffe abazungu baagitandika dda era ebagasizza. Abantu baleka ebintu nga bavudde mu nsi naye ne babirekera abantu be beesiga nebabikuuma. Noolwekyo tumanye ettaka we lire, tufune obuyinza bwalyo, tuliteeke mu bayima abalikuuma.
Waliwo ensonga y’okukulaakulanya ettaka ly’ebika nga ligabibwako liizi abamu kye bawakanya. Olowooza otya ku nsonga eno?
Mpagirira ddala eky’okuliwaako liizi nga tuyita mu mateeka agavudde mu bayima era ekika kisobola okutuula mu lukiiko nekitondawo kkampuni eyingiza ssente ezinaakiyamba okukulaakulana.
Bwetuba nga tukoze kino, tusobola okukulaakulana ng’abantu abangi abali ku ttaka lyaffe, batuwa busuulu kubanga gyebuva ne gyebwenkana, ettaka osobola okulikozesa nga ggwe oba okuliwa omulala n’alikozesa kubanga kiyamba obutabeerako nsiko.
Abamu balowooza nti Abataka abakulu ab’obusolya bayisibwamu amaaso. Ogenda kukola otya okukuuma ekitiibwa kyabwe?
Tulina okusooka okumanya abataka be b’ani? Kubanga Buganda bwe yali etondebwawo tukimanyi nti yalwanirira era tukimanyi nti abataka baalwana nnyo okulaba nga bazzaawo Buganda gye tulimu.
Tukimanyi bulungi nti olukiiko olwatuula Ennono lwalimu Kabaka Kintu n’abakulu b’ebika kubanga bano abakulu b’ebika baali nga bakabaka ab’abantu mu kiseera ekyo. Naye baasalawo okubeera wansi wa Kabaka Kintu era y’ensonga lwaki owulira nti ffe tuli bataka ate Kabaka ye Ssaabataka.
Enkola eri nti buli muganda yenna alina kuyita mu mutaka okutuuka ku Ssaabataka era singa kino abantu bakimanya ne bakinyweza tuba tujja kukulaakulana.
Twongere okumanyisa abantu obukulu bw’abataka ate oluvannyuma n’abataka bamanye ekitiibwa kyabwe we kiri, kubanga bwe tuneewa ekitiibwa, nsuubira nti n’abalala bajja kukituwa.
Nze nja kukola kye nsobola okulaba nga nkuuma ekitiibwa kya bataka, ebintu bya kwogera nakukkaanya.
Olina ntegeka ki okwongera okukulaakulanya ebika?
Tulina okulinnya mu bigere bya bannaffe abatusooseewo kubanga balina bingi bye bakoze era mbeebaza. Buli omu agenze azimbira ku munne. Noolwekyo ng’enda kukwasiza bannange we bakomezza mu kukulaakulanya ebika kubanga biringa mawanga magatte. Buli omu alina obuyinza ku kika kye era ffe tukubiriza naye okukola kuli mu kika.
Nkubiriza abakulu b’ebika okukola ennyo okulaba ng’ekiseera kye tulimu kya kukola ate we tunaaba tufunye ebitukulaakulanya, kijja kuba kirungi nnyo ng’Obwakabaka butuwagira. Noolwekyo wajja kubeerawo enkwatagana n’Obwakabaka n’ebika, twongere okukulaakulana.
Oteeseteese otya okugatta ekika ky’Ekkobe kubanga waliwo Namwama eyakusookawo.
Ensonga z’ekika ky’Ekkobe zimaze emyaka 130 n’Obutaka abantu bali babuwandukuludde. Mu kika ky’Ekkobe ojja kusangawo amasiga agaliko abataka ababiri. Ensonga zino eziriwo abamu ku bantu baffe tebamanyi ngeri gye zaatandikamu.
Bwetuba tuggusizza akasolya, tujja kutereeza ne wansi kubanga kati obuyinza tubulina. Okubutereeza nga tukozesa okwogeraganya nga abooluganda eri oyo ayagala okwogera, nsuubira nti ebyo bijja kubaawo.
Tetulina muntu gwe tugenda kusuula, buli muntu w’’Ekkobe ajja kusigala nga wa Kkobe. Mpozzi okwogera we kugaana, nga tukozesa ekkooti kubanga buli kika kirina ekkooti. Mu kika ky’Ekkobe, tulina ekkooti bbiri, ekkooti ento, n’ekkooti ejulirwamu. Buli amanyi nti tuggusizza akasolya amanye nti buli nsonga tujja kugiggusa kubanga buli kimu kisoboka.
Ekizibu kya beewang’amya ku bukulu bw’ebika ogenda gikwata otya?
Embeera y’abalyi b’ensowole yajja mu Bwakabaka olwensonga nti abazungu baali beefuze obukulembeze. Ekyo n’ekiwa ebbeetu abantu okwewang’amya mu bukulembeeze kubanga ebitongole ebyali bikola ku nsonga ezo ebiseera ebyo byali bivuddewo.
Naye tulina okuwa amaanyi ebitongole nga kkooti z’ebika ezirina okukola ku nsonga z’okugonjoola ekizibu ekyo, ate birina okuba nga bituukikako. Ensonga we zituuka mu kkooti ezo nezitatambula bulungi, nga tuzambusa waggulu mu kkooti ya Kisekwa. Okuggyako nti olumu wabeerawo okutambula empola mu kkooti ezo olw’ensonga nti nabo babeera n’emisango mingi.
Singa twongera amaanyi mu kaliisoliiso waffe n’alondoola ebigenda mu maaso mu kkooti z’ebika, ekizibu kino kijja kukendeera.
Tukulabye ng’oyanjulwa ewa Ssaabasajja Kabaka nga Namwama. Emabegako w’otandikidde emirimu oba obaddeyo ng’okola yadde nga tobadde mutongole?
Natandika mu 2001 n’enkola emirimu gy’Obwakabaka naye oluvannyuma ne nvaamuuko. Nkoze emirimu gy’Ekkobe mingi, tukung’aanyizza ebikwata ku kika era byonna tubitadde mu buwandiike. Kati bwekiba kisigadde mu buwandiike, buli anajja ajja kumanya ebikwata ku Kkobe. Ebimu bizze bitubuulirwa mu bigambo abanaddawo bamanye lwaki beddira Kkobe. Tubeera ba kitiibwa mu mbeera y’okukwatira awamu ng’ abantu.
Bubaka ki bw’owa abavubuka ab’omulembe Omutebi?
Abavubuka bamanye nti be bakulembeze b’enkya ate n’aba kati, twagala abavubuka beenyigire mu buli kye tukola, we tugenda okulima nabo balime. Tulina enteekateeka y’okulaba nga twogerako nabo mu masomero gaabwe tulabe nga bamanya obuwangwa n’ennono yaabwe.
Tugenda kukwatagana n’ebitongole by’abavubuka, tetujja kubaleka mabega kubanga bwe tubaleka embega, tuba tweziise. Abavubuka mu Buganda bajja kubeera ku nkiiko zaffe era tugenda kukola ebintu ebibazzaamu amaanyi, tubasakire era bakulaakulane.
Abaganda abali mu bitundu eby’enjawulo obawaayo ntanda ki?
Abantu ba Ssaabasajja abali wano n’ebweru mbajjukiza nti Abaganda tetuli mmomboze, tulina we tusibuka era Katonda yasiima n’atutondera wano era mbasaba twematire kubanga kya kitiibwa nnyo okubeera Abaganda.
Abazungu batuwandiikako ng’ensi gye baasangamu abantu abategeevu era ab’ekitiibwa. Ettoffaali lya Buganda lisigale nga likyatambula, twagale olulimi lwaffe n’obuwangwa bwaffe, olwo tubeere mu nsi eyeeyagaza.