• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Hajji Nadduli : Abeesimbyewo tebakikola lwa kwagala NRM naye baagala ssente

Gambuuze by Gambuuze
October 16, 2020
in Amawulire
0 0
0
Hajji Nadduli : Abeesimbyewo  tebakikola lwa kwagala NRM naye baagala ssente
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Nakaseke

Eyaliko ssentebe wa NRM mu Buganda, Hajji Abdul Nadduli, ategeezezza nti abantu abavuddeyo okwesimba ku mutabani we Jakana Sulaiman Nadduli, ku kifo kya Nakaseke Central nti  tebazze lwa kulumirirwa kibiina wabula baagala kwekolera ssente.

Hajji Nadduli nga ayogerako eri bannamawulire e Nakaseke

Nadduli okulya mu ttama, abadde awerekeddeko mutabani we Jakana abadde azzeeyo okwewandiisa oluvannyuma lw’okulemererwa olunaku lw’eggulo olw’ensobi y’amannya ge obutakwatagana nabiwandiiko bye.

“Bano abazze si bamwoyo gwa ‘spirit’ ya NRM, mwoyo gwa ‘spirit’ ya ssente, bazze kulya mu kintu anti akuwa okubaaga,” Nadduli bw’ategeezezza.

Nadduli annyonnyodde nti bangi ku bantu abaalwanirira gavumenti eno okujja mu buyinza baabivaako dda nga kizibu okusanga abantu nga ye ng’alwana okulaba nga wabaawo obwenkanya n’asaba abalonzi okumuwagira.

Oluvannyuma lw’okusunsulwamu Jakana ayogedde ku nsobi eyabaddewo yabadde ya linnya Nadduli eri ku Ndagamuntu ye okubula ku biwandiiko bye eby’obuyigirize n’akakasa nti obuyigirize obwetaagisa bwonna abulina.

“Bagambye nti erinnya ly’Owek. Nadduli siryange ku biwandiiko teririiko ate nga ku Ndagamuntu kweriri. Tugenze netubikolako naye omukisa olw’okuba nti gwabadde gutuli ku mugongo, bwe twatuuseeyo nga Hajji amanyiddwa nebagamba nti tetuyinza kulemesa mutabani katwanguyeeko ebintu bino asobole okuddayo okwewandiisa era nebabitereeza,” Jakana bw’annyonnyodde.

Ono aweze nga bw’agenda okuwangula akalulu kano kubanga ebintu bingi bye bakoze okulaba nga bakisitula.

Jakana agenda kuvuganya Hajjati Saidah Bbumba ne Godfrey Kiyingi abasunsuddwa olunaku lw’eggulo ku kifo kya Nakaseke Central mu Palamenti.

Abalala abasunsuddwa kuliko; Charles Kawuma Nsereko ayagala okuggyayo Ssemakula e Nakaseke South, n’Omubaka Sarah Najjuma.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist