Bya Ssemakula John
Kamwokya
Omubaka wa Kampala omukyala Nabillah Naggayi Ssempala, aweereddwa kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ku kifo ky’Obwaloodimmeeya bwa Kampala.

Leero ku Mmande, Nabillah akedde ku kitebe kya kibiina kya NUP okusunsulwamu era nga ono ne munne Hajji Kadra Ssali bwe babadde bavuganya balaze ebisaanyizo byabwe era bwekatyo akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda nekasalawo kkaadi eweebwe Nabillah Naggayi Ssempala.
Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, Nabillah yafunye obubonero 166 ku obwo 200 ab’akakiiko bwe babadde bataddewo ate ye Ssali ku 200 yafunyeko 87.
Nabillah oluvannyuma lw’okuwangula kkaadi eno ategeezezza nti buno buwanguzi bw’amaanyi era nga mwetegefu okuvuganya era aleetere ekibiina kino obuwanguzi.
“Abantu b’e Kampala beetaaga entandikwa empya, Pulezidenti abeere mupya nga ne Loodimmeeya mupya. Bannayuganda olunaamala okulonda Robert Kyagulanyi nga Pulezidenti waabwe nga olwo baddako nze nga Loodimmeeya waabwe.” Naggayi bw’alambuludde.
Naggayi yava mu Forum for Democratic Change (FDC), mw’abadde ayitira okwesimbawo mu palamenti okumala emyaka 15. Bweyammibwa kkaadi ng’ayagala okuvuganya ku Bwaloodimmeeya bwa Kampala,
Nabillah yalangira abakulu mu FDC olw’okumma abakyala omukisa okutuula ku bifo ebinene mu kibiina.
“Ndi musanyufu okulaba nga mu NUP abakyala baweebwa enkizo.” Naggayi bw’agambye.
Nabillah Naggayi yasaba kkaadi y’ekibiina oluvannyuma lwe yali agiwangudde Hajji Latif Ssebagala okugisuulawo olwo abakulu mu kibiina nebaddamu okulanga.
Mu kiseera ky’ekimu, Omuyimbi Joseph Mayanja (Jose Chameleon) abadde akyawakanya eky’okumulemesa kkaadi eno era ng’oluvannyuma lw’okulondawo Ssebagala, yavaayo n’awandiikira akakiiko kano nga yeemulugunya ku butali bwenkanya obwamukolebwako.
Kati Nabilah Naggayi asuubirwa okuvuganya Loodimeeya aliko Erias Lukwago, Omuyimbi Daniel Kazibwe (Raggae Dee) owa NRM awamu n’Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone.








