Bya Musasi Waffe
Kampala
Ssaabaminisita omuggya, Robinah Nabbanja akakasizza bannayuganda nga bw’alina ebisaanyizo byonna okuweereza eggwanga lye nga Ssaabaminisita mu kisanja kino.
Kino kiddiridde Nabbanja okulondebwa nga Ssaabaminisita w’eggwanga ku ntandikwa ya wiiki eno. Ono bw’atyo yayingidde mu byafaayo ng’omukyala asoose okubeera Ssaabaminisita okuva ku meefuga mu 1962.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire mu maka ge wano mu Kampala, Nabbanja yeebazizza Pulezidenti Museveni olwokumulengera n’amuwa omukisa okuweereza eggwanga lye.
Ono agamba nti amawulire gano yabadde tagasuubira era gaamwewuunyisizza nnyo.
“Nasoose butakkiriza nga ndowooza nti mboozi za mutimbagano. Saakisuubidde kuba tebaasooka kumbuulirako, kwe kugamba gankanze.” Nabbanja bw’ategeezezza.
Ono akakasizza bannamawulire nti mwetegefu okuweereza mu kifo kino.
“Bannayuganda mbawa essuubi nti mu bifo byonna gye mpeerezza mbadde nfuna obukugu. Ndi mukugu era nze mubaka nzekka mu kitundu kino eyali mu kisanja kya 2016 eyasobola okudda nga sivuganyiziddwa.” Nabbanja bw’aggumizza.
Ono agamba nti ebifo by’abaddemu nga RDC, Kamisona wa Palamenti n’Omubaka, kimala okukakasa eggwanga nti mukulembeze mulungi.
Nabbanja yazze mu bigere bya Dr. Ruhakana Rugunda eyalondeddwa okubeera omubaka ow’enjawulo mu woofiisi ya Pulezidenti ekifo ekitabaddewo.
Nabbanja y’ani?
Nabbanja yazaalibwa ku kyalo Kamuseenene, mu ggombolola y’e Nkooko mu Kakumiro e Bunyoro nga 17 December 1969. Yasomera ku Nkooko Primary School ne yeegatta ku St. Edward’s Secondary School -Bukuumi, gye yasomera ssiniya eyookuna n’eyoomukaaga.
Wakati wa 2001–2010 yaweereza nga RDC e Paliisa, Busia ne Budaka, okumala emyaka 10 bwe yamala ne yeesimbawo okubeera omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kibaale era n’awangula.
Kakumiro disitulikiti bwe yayawulwa ku Kibaale mu 2016, ono yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala, ekifo kye yazzeemu okuwangula mu 2021.
Nabbanja ekiseera ky’abadde mu Palamenti aweerezzaako ng’omuwanika w’akabondo ka NRM wakati wa 2011-2016, era n’abeera kamisona wa Palamenti wakati wa 2016 okutuuka 2019.