Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Ab’ekibiina kya Bannamutimbagano aba “Buganda Yiyo Buganda Yange” banjudde enteekateeka yaabwe ey’omwaka 2026 eri Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke.

Buganda Yiyo Buganda Yange kibiina ky’abavubuka abalina omwoyo gwa Buganda nga bali ku mikutu egy’emitimbagano nga X, Facebook, TikTok n’emirala, bano bateekako obubaka obukwata ku Bwakabaka ne Buganda yonna wamu n’okulwanirira Obwakabaka okuva eri abo ababusekeeterera. Bano Minisitule y’Amawulire yabaaniriza okulondoola n’okubalungamya mu mirimu gye bakola.
Bano leero nga 18 Mugulansigo 2026, bakiise Embuga okwanjulira Minisita w’Amawulire enteekateeka zaabwe mu omwaka guno omuli; okukuba enkiiko zaabwe ku mutimbagano nga zikungaanya abantu ab’enjawulo nga bakubaganya ebirowoozo ebizimba Obwakabaka, okukulakulaanya ekittavu kyabwe, okutandiikawo pulojekiti ez’enjawulo ne bammemba baabwe abawangalira ebweru w’eggwanga (diaspora chapter), okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka nga okuwaayo oluwalo okuva mu bannamutimbagano, okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka n’enteekateeka endala.
Minisita Kazibwe bano abaanirizza mu ssanyu era abasabye befumiitirize ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid El-Fitr mw’alambikidde abantu okukozesa emikutu gy’okumitimbagano obulungi era bano abakuutidde okwongera okulwanirira ekitiibwa kya Nnamulondo nga bakozesa obukugu bwabwe ku mitimbagano.
Oweek. Kazibwe asanyukidde nnyo enteekateeka yaabwe ey’ekittavu n’abakubiriza okulabira ku bibiina nga CBS PEWOSA engeri gye byatandikamu okutuuka kati nga bisitudde n’ebizimbe ebirabwako era agamba nti kino kye kimu ku bintu ebigenda okubayambako okwekulakulaanya mu bulamu bwabwe.

Minisita abasabye okutunuulira okutandikawo pulojekiti eyabwe nga esobola okuvaamu ensimbi zibayambeko mu bulamu bwabwe n’okusika abantu ababeetoolodde.
Ssentebe w’ekibiina kino Mw. Munaawa Dan agamba nti ekibiina kyabwe kyeteefuteefu okutambuza emirimu wamu n’Obwakabaka nga baakulembeddemu n’enteekateeka y’okuwaayo amasanyalaze eri essomero lya Ssaabasajja Kabaka erya Pookino Nursery School mu Buddu.









