Bya Stephen Kulubasi
Buyinja- Namugongo
Ssaabaganzi wa Buganda, Ssaalongo Emmanuel Ssekitooleko, akubirizza abantu ba Buganda okuwuliriza Nnyinimu era batwale okuwabula kwe ku nsonga ez’enjawulo ng’ekikulu bwe baba baagala okutereeza obulamu bwabwe.
Okusaba kuno Ssaabaganzi yakukoledde mu maka ge e Buyinja mu Namugongo bwe ybadde awayaamu n’omukutu gwa Gambuuze wiiki ewedde.
“Mbakuutira okuwuliriza Kabaka by’atugamba kubanga biyamba ffe. Buli Kabaka lw’avaayo n’ayogera, atuwa obubaka obulungi ate ababuwuliriza bafunamu era Kabaka mwebaza olw’okutukumaakuma ffenna Abaganda n’abatali kubanga ye tasosola.” Ssaabaganzi bw’agambye.
Ssaabaganzi era asiimye Kabaka olw’okukulembera Obuganda obulungi era n”amwagaliza Amatikkira g’emyaka 28 okubeera amalungi kuba afubye okutumbula embeera z’abantu be.
Ono atenderezza Omutanda olw’okutumbula obulamu ng’okugema abaana n’okulwanyisa endwadde okuli; Mukenenya, Nnalubiri n’ekikulukuto mu bakyala n’ebyenjigiriza awatali kusosola mu mawanga, amasomero gazimbiddwa era abantu be n’abawa emirimu.
Ono era ayongedde ne yeeyanza Kabaka olw’okujjukira jjajja we Ndiwulira n’amubbulamu ekizimbe ky’Obwakabaka ekizimbibwa ku mbuga y’essaza e Makindye. Ono era bw’atyo n’akuutira Abaganda wonna gye bali okunyweza obumu basobole okuyita mu kusoomooza okuliwo.
Kojja wa Kabaka era asabye abantu ba Buganda okwewala eng’ambo eziyiting’ana ku mutimbagano nga zikwata ku Buganda naddala ezo ezikwata ku Kabaka.
Ono agambye nti eng’ambo zino kabonero akalaga nti waliwo alwanyisa Buganda kyokka n’awera nti bo ng’abali okumpi n’Omutanda, ebigambo ebyo wadde bibanyiiza, tebibayigula ttama kubanga babeera bamanyi ekituufu.