Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde eky’abantu okwebalama okugenda mu malwaliro okwekebeza endwadde ezibaluma ne badda mu kulowooleza mu ddogo okubawonya.
Katikkiro asinzidde mu ku mukolo kw’atongolezza omuyungiragano abantu kwe bagenda okuyita okuwagira omulimu gw’okuzimba ekifo ewakyusirizibwa obusomyo ekisookedde ddala mu Uganda. Enteekateeka ewomeddwamu omutwe aba Rotary Club of Kampala Springs nga bakwataganye ne Joint Clinical Research Centre wamu ne Pearl Bank.

Katikkiro Mayiga agamba nti Bannayuganda basaanye bajjumbire enkola ya ssaayansi okwekebeza endwadde olwo lwe bajja okuzuula ekituufu ekibaluma bafune obujjanjabi obutuufu mu kifo ky’okulowoolezanga mu ddogo buli kiseera ate na bamaliriza nga tebawonye abamu ne bafiirwa n’obulamu.
Katikkiro agamba nti okukyusa obusomyo kimanyiddwa nga enkola esobola okutaasa obulamu bw’abo abalina nnalubiri, obulwadde obumanyiddwa obulungi nti gye buvuddeko Obwakabaka bwabuteekako essira okubulwanyisa n’okuzuukusa abantu okubwetangira, kyokka agamba asanyukidde enteekateeka ezze okwongera okutaasa abo abalina obulwadde buno n’abo abalina endwadde ezeetaaga okukyusa obusomyo.
“Obulwadde bwa nnalubiri bwasumbuwa nnyo abantu mu Buganda wano nga tebabuteegera abasinga nga baliyita ddogo ne batafaayo kugenda mu basawo bakugu kwekebeza, twagala okwongera okumalawo embeera eno, kubanga nga tuluubirira okusitula embeera z’abantu baffe ebyobulamu birina kuteekebwa ku mwanjo anti omuntu atali mulamu bulungi, takola bulungi mirimu era tasobola kusitula mbeera ze oba Nsi ye” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga asinzidde wano n’atongoza omuyungiragano guno era n’akoowoola abantu okujjumbira okuwagira enteekateeka eno esobole okugguka era eganyule abantu abalina endwadde ezeetaaga okukyusa obusomyo nga nnalubiri n’endala.
Ssenkulu wa Joint Clinical Research Centre – JCRC, Dr. Cissy Kityo Mutuluza agambye nti Uganda eri mu kifo kyakuna ku lukalu lwa Africa ku mawanga agasinga okubaamu abantu abalina obulwadde bwa nnalubiri kyokka nga terina kifo we basobola kukyusiza busomyo eri abo abayina obulwadde buno nga eno y’ensonga lwaki bavaayo n’enteeka eno. Ono era ategezeza nti enkola y’okukyusa obusomyo tekoma kujjanjaba bulwadde bwa Nalubiri bwokka wabula esobola okuyambako okujjanjaba endwadde endala nga kkansa w’omusaayi n’endala.
Dr. Cissy agamba nti banonya ensimbi obukadde bwa ddoola 4, wabula nga kati baakafuna ensimbi ezisoba mu kakadde kamu aka ddoola era bazze Embuga okufuna eddoobozi ly’Obwakabaka okwongera okuwagira omulimu guno gugguke.
Ye District governor wa Rotary 9213, Rtn. Geoffrey Kitakule asabye Katikkiro n’Obwakabaka okubayambako okugatta eddoboozi ku nteekateeka Eno esobole okuvaamu ebibala kubanga bayaayanira ekifo kino ekitaasa abalwadde ba nnalubiri basobole nabo okufuna essuubi n’okutaasibwa obulwadde buno.
Julius Kakeeto nga ye Ssenkulu wa Pearl Bank agambye nti baakukola ekisoboka kyonna okulaba nga enteekateeka y’okuzimba ekifo kino egguka bulungi kubanga bbo nga bbanka balina okwagala mu ssaayansi n’obuyiiya era kwe kuvaayo okuwagira enteekateeka eno.

Ku muyungiragano guno ogutongozeddwa: https://bmtfundraising.jcrc.org.ug/ omuntu asobola okuweereza ssente zonna z’asobodde okuwagira omulimu guno okugguka.









