
Bya Ronald Mukasa
Buddo – Busiro
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye amasomero okuteeka essira ku masomo g’Ebyobulimi ne Tekinologiya okusobola okuyamba abayizi n’okulaakulanya eggwanga.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku ssomero lya Kings College Buddo naategeeza nti ebyenjigriza bweriba ly’ekkubo eriyina okuyitibwamu okulya ensi amasomo nga, Ebyobulimi, Tekinologiya, Ebyafaayo ebya buli ggwanga n’essomo ly’ennimi ennansi galina okusoosowazibwa.
Mukuumaddamula Mayiga annyonnyodde nti okusobola okuggyayo obulungi okwolesebwa kwa Kabaka Daudi wamu nokumwebaza okutandikawo essomero lino, kwe kulaba nga King’s College Budo egenda mu maaso n’okutuusa ebyenjigiriza ebiri ku mutindo eri eggwanga.

Owek. Mayiga agamba nti abaasomera ku ssomero lino boolese ekifaananyi ekituufu yonna gyebatambulira ekiweesezza essomero lyabwe ekitiibwa.
Ono asabye ekizimbe ekiddako okuzimbibwa kituumwe erinnya Kabaka Daudi Chwa okusobola omujjuukirirako olw’ebyo byeyakolera Buganda ne Uganda.

Omulabirizi we Namirembe Moses Banja, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuwaayo ettaka okusobozesa okugaziya enkulaakulana mu ssomero lino bwatyo naasaba aba Buddo okukozesa obulungi ettaka lino mu ngeri eweesa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa.
Ye Omukulu we ssomero lino, Canon John Fred Kazibwe alambuludde gyenvudde we ssomero lino naalaga nti buli mwaka lyeyongera okukula ate nokukola obulungi mu kisaawe ky’ebyenjigiriza.
Ekisulo kino kya myaliiro esatu nga kiriko obusenge 20 nga buli kamu kasuza abayizi 18.

Omukolo gwetabiddwako; Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita wenkulaakulana y’Abantu n’Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w’Olukiiko Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, ow’essaza Busiro Charles Kiberu Kisiriiza, abakungu ba Kabaka n’aba Gavumenti ya wakati.