• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Museveni alagidde Nakalema anoonyereze ku beesenza ku ttaka lya Namanve

Gambuuze by Gambuuze
October 6, 2020
in Amawulire
0 0
0
Museveni alagidde Nakalema anoonyereze ku beesenza ku ttaka lya Namanve
0
SHARES
32
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Namanve

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde Col. Edith Nakalema ayingire mu nsonga z’abantu abeesenza ku ttaka ly’ekibira ky’e Namanve ekimanyiddwa nga’ Namanve Central Reserve’ wamu ne ‘Zirimiti Central Reserve.’

Col. Edith Nakalema ne Ssenkulu wa NFA Obongo nga balambula ekibira

Kino kiddiridde abantu abasoba mu bisatu (300) okuzingako ettaka lino nga bakutte ebissi n’amajambiya ne batandika okulyegabanya n’okulisalamu poloti.

Nakalema nga y’akulira akakiiko akalwanyisa obulyi bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti, olwaleero akedde kulambula kibira kino era n’awera okutuuka ku kinyusi ky’ensonga eno.

“Twagala okumanya abantu abali emabega w’okutwala ettaka lino n’abantu abeesenza ku ttaka lino nebatuuka n’okulifunako ebyapa. Twagala era okumanya baabifuna batya era ani yabibawa, ekitongole kya NFA kikozeewo ki ku nsonga eno.” Nakalema bw’agambye.

Ekibira kino kyonna kiwerako ‘Hectares’ 2000 era nga kyafuulibwa ekibira kya gavumenti mu 1932 naye okusinziira ku bakulu mu kitongole kya National Forest Authority (NFA), bagamba nti yiika 20 abantu baamaze dda okuzesenzaako.

Mu kaweefube w’okugezaako okutaasa ettaka lino, ekitongole ky’ebibira kyali kyawaayo ettaka lino eri abalimi b’emiti balimireko kalittunsi wabula kino tekyalemesa bantu bamu kuzimbako nnyumba.

Aduumira poliisi e Mukono, Abubakar Musiho, annyonnyodde Nakalema nti waliwo abantu abawerako bonna bakaayanira obwannanyini ku ttaka lino okuli; ekitongole ky NFA, amakampuni ate n’abantu ssekinnoomu abagamba nti baalifuna kuva ku Bwakabaka bwa Buganda ng’ekirabo.

Akulira ekitongole kya NFA, Tom Obongo Okello, omusango agutadde ku kakiiko k’ebyettaka (Uganda Land Commission) n’ategeeza nti ettaka erimu ku kitundu kino lyaweebwa bannamakolero mu 1997 ate eddala nelisigalawo nga lya kibira.

Obongo agasseeko nti ekibira kyokka ekisigaddewo ky’ekyo ekiri ku ludda lw’essomero lya Namiryango College naye ate nalyo waliwo abalirinako ebyapa.

Bya URN

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist