• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Museveni alabudde aba KCCA, Kampala siwa bagagga bokka

Gambuuze by Gambuuze
November 2, 2022
in Amawulire
0 0
0
Museveni alabudde aba KCCA, Kampala siwa bagagga bokka
0
SHARES
26
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde abakulira n’okuteekerateekera ekibuga Kampala  ku kugobaganya abanaku  naddala mu butale okukikomya mu bwangu kuba Kampala siwa bagagga bokka.

Okulabula kuno, Museveni akukoze asisinkanye ab’ekitongole ki Kampala Capital City Authority, abakulembeze b’obutale  mu Kampala n’emirilaano mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero ku Lwokubiri.

Pulezidenti Museveni yategeezezza nti abantu bamufuna mpola bebalina okubeera bannannyini butale buno awamu n’okubuddukanya kyokka kyewunyisa okulaba nga obumu butwaliddwa abagagga nebabuggya ku banaku.

“ Abagagga basobola bulungi okufuna amaduuka ku Kampala Road, Ntinda n’ebifo byonna ebirala. Nga abakulembeze abalumirwa ensi yammwe, mulina okulowooza ku baavu,” Pulezidenti Museveni bwe yannyonnyodde.

Ensisinkano eno eddiridde ekiragiro kya Pulezidenti ku kugonjoola ensonga eziruma abantu abaavu mu Kampala n’emirilaano.

Museveni era alagidde KCCA okulaba nti buli Divizoni ye Kibuga ebeeramu obutale bubiri obwa gavumenti awamu ne ppaaka 2 nga bino birina kubeeramu baavu  era bebalina okubiddukanya.

“Abantu bemugoba ku nguudo babadde bagamba nti tebalina waakulaga, kati bwemubagoba nga temubategekedde banaalaga ludda wa?” Museveni bwe yabuuzizza.

Okusobola okusalira ebizibu bamufuna mpola byebayitamu, Pulezidenti Museveni yalagidde Ssaabaminisita okutuula nabakwatibwako ensonga basalire wamu amagezi ku kirina okukolebwa.

Ssaabaminisita, Robinah Nabbanja  yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’amaanyi gateekau okulwanirira omuntu wa bulijjo era neyeeyama okukolagana nabakwatibwako okuteereza embeera ya Mufunampola mu butale.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu  minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye, Minisita wa gavumenti ez’ebitundu , Raphael Magezi, Akulira KCCA  Dorothy Kisaka, Omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Amina Lukanga ne Mmeeya Salim Uhuru.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist