Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi kaleero akirizza abavuzi ba boda boda okugenda mu maaso n’emirimu gyabwe okusukka essaawa omunaana.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero, Museveni agambye nti akakiiko akakulirwa Ssaabaminisita Livingstone Ruhakana Rugunda kaamuwadde alipoota nti tekirina buzibu kukola okusukka ssaawa munaana.
Kyokka ono yagambye nit bano balina okukoma okukola ku ssaawa kkumi neemu ez’olweggulo.
Museveni yagambye baali bagambye aba boda boda n’obugaali obutasukka ssaawa munaana kubanga abakozi b’ebikolobero baali batanidisse okuzeeyambisa.
Kyokka era Museveni yakozesezza okwogerakwe kuno n’agamba nti akakiiko ka Rugunda kagenda kwetegereza okulaba oba kisoaboka emmottok enneetissi z’emigugu okutambuliramu dereeva yekka.
Ygaambye nti newankubadde baali bakirizza abantu basatu, bangi bamugambye nti omu amala kubanga abangi kyangu okusaasaanya obulwadde.
Mu birala, Museveni yalabudde abantu bonna abaagala okukweka emmere basobole okulinyissa emiwendo n’agamba nti wakugitumya okuva ebweru w’eggwanga.
“Kasita mpulira akantu konna nti mugezaako kukulira emmere ng’enderawo wabweru; essente n’enziwa abagwira kubanga kirabika temwagaliza baganda bammwe kalungi,” Museveni bweyagambye.
Ono era yakkirizza abakazi be’mbuto okutwalibwa mu malwaliro mu motoka ez’obwannanyini newankubadde tebafunye lusa lwa RDC.
”Omukazi ali olubuto alabika okujjako ng’oli atadde bulangiti mu lubuto kubanga bannayuganda sibangu,” Museveni bweyagambye.