Musasi waffe
Omukulemebeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi ka leero agambye nit kafiyu ava ku saawa emu eyakawungeezi n’akoma ku ssaawa kuminabbiri n’ekitundu waakusigalawo ng’omu kukaweefube w’okulwanyisa ekiradde kya coronavirus.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga ku kirwadde kya senyiga wa corona, Museveni agambye abantu ab’enjawulo bamutuukiridde ne bamusaba lwakiri kafiyu atandika essaawa bbiri bwaba tayagala ku mugyalawo ddala.
“Nange mbadde ntandise okwebuuza kafiyu lwaki akyaliwo ngate twata emmotoka okutambula. Naye bannasayansi bangambye nti bwokkiriza abantu ne batambula ekiro, kigenda kuba kizibu okuteekesa mu nkola amateeka amalala. Abamu bajja genda mu maka gabalala bagafuule ebbaala,” Museveni bweyagambye.
Yagaseeko nti kafiyu yagendereramu kukuumira bantu mu maka gaabwe baleme kusaasaanya kirwadde kya coronavirus.
“Mudde eka nga bukyali ere temuvaayo, kyekyo ekigendererwa kya kafiyu,”
Kyokka ono ategeezezza nti era kafiyu abayamba okulemesa abazzi b’emisnago obutataayaa kiro. Abo emiirimu gyabwe egikyali ku maggalo bandi sikirizibwa okwenyigira mu bumenyi bwa’amateeka,” Museveni bweygaambe.
Mu birala, Museveno yakkirizza abalina emotoka ez’obwannanyini okutandika okutambuza abantu bana.