
Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwaleero alagidde amasinzizo n’amasomero gonna okuggalawo okwetangira ekirwadde kya Coronavirus.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga eggulo lyaleero Museveni agambye nti amasomero gonna okuva ku nasale okutuuka ku mattendekero galina okuggalwa obutasukka saawa mukaaga ku lwokutaano.
Pulezidneti era aragidde n’ebifo ebisinzibwamu byonna okwetooloola eggwanga okuggalawo mbagirawo okumala omwezi gumu.
Museveni era agambye nti n’abafu bonna balina okuziikibwa ba nganda zaabwe bokka.
Ekirwadde kya Coronavirus kizinzeeko ensi yonna nga kati kyakatta abantu abagenda mu 8000 ng’ate abalala 180,000 kyamaze dda okubayoola.








