Bya Samuel Stuart Jjingo
Mawogola

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okwetegereza ennyo eby’obugagga Katonda bye yabawa, bamanye omugaso gwabyo era babikuume butiribiri.
Owek. Mayiga bino abitadde mu bubaka bw’atisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwagga Mugumbule amukiikiridde mu kuggalawo ssabbiiti ya Butondebwensi mu Buganda ku mukolo ogubadde ku mbuga y’essaza Mawogola esangibwa mu ggombolola ye Mijwaala.
“Tewali wantu walala muntu waayinza kweyagalira kusinga ewaabwe. Tufube nnyo okwetegereza eby’obugagga Katonda bye yatuwa mu nsi yaffe okuli; empewo ey’obulamu gye tussa, emmere n’ebibala byetulya, amazzi, eddagala n’emiziro gye tweddira era nga bino byonna biggumiza obutondebwensi.” Katikkiro Mayiga
Kamalabyonna era asabye bannamawulire basoosowaze abaana b’amasomero nga bayita mu bubaka bwe bafulumya obwogera ku Butondebwensi okugeza nga ebitontome, ennyimba n’ebintu ebirala bingi nnyo.

Minisita wa Bulungibwansi, Butondebwansi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo agamba nti Bannamawogola baamukisa nnyo okubeera nga Ssaabasajja yabalondebyeyo okubeera essaza erigaddewo ssabbiiti y’Obutondebwensi, ky’agambye nti kigenda kuyambako okukyuusa embeera gye bawangaliramu oluvannyuma lw’okubangula ku butonde.
“Ensi okubeera ennungi tulina kukuuma bintu bye tuwangaala nabyo nga obutondebwensi,” Owek. Mariam. Ono asabye abaami b’eggombolola okusomesa abantu obuzibu obuli ku kusaasanya kasasiro n’obucupa ebiviiriddeko obutonde okusaanawo era yensonga lwaki Obwakabaka bubitaddeko nnyo essira ku mulundi guno.
Omwami w’essaza Mawogola Muteesa Owek. John Kankaka yeyamye okukunga bannamawogola okutambuza enteekateeka z’Obwakabaka zonna ng’okutaasa obutondebwensi, oluwalo, ebyemizannyo n’ebirala. Wabaddewo okwolesa enkola y’okufumba nga bakozesa amasannyalaze amayonjo era nga enteekateeka eno egwa butereevu wansi w’omukago Obwakabaka gwe bulina ne Minisitule ya gavumenti eyawakati ey’Amanyi g’Enjuba n’Obugagga obusibuka mu ttaka.
Omukolo guno gwetabiddwako omukiise mu Lukiiko lwa Buganda olukulu Owek. Peter Kuwatannya, Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, bannaddini, bannabyabufuzi ab’enjawulo okuva mu kitundu kino n’abantu abalala bangi nnyo.








