Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Minisita wa Buganda ow’obweggasi, Hamis Kakomo, asabye abantu okukomya okwetundako ettaka naye balikozese okulirimirako kibayambe okukulaakulana n’okulikuuma.
Okusaba kuno Owek. Kakomo yakukoze eggulo ku Lwokubiri bwe yabadde atandika kaweefube w’okulambula ebibiina by’obweggasi binnansangwa mu Buganda.
“Obwakabaka tuwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka amagezi, tetwetundako ttaka kubanga ettaka lyafuuka akataka era mbasiimye okuba nga ettaka lino tebalitunze era nembakubiriza bongere kulikolerako bintu bireeta ssente,” Owek. Kakomo bwe yagambye.
Minisita Kakomo yagambye nti ekigendererwa ekikulu kwe kuzzaamu abantu abawaniridde ebibiina amaanyi wamu n’okubaako bye babayigirako.
Okusinziira ku Owek. Kakomo enteekateeka eno egenda kubuna Buganda yonna n’ebweru waayo era ng’atandikidde ku kibiina kya West Mengo Growers Co-operatives Limited ekimaze emyaka 62.
Ekibiina kya West Mengo Growers kimanyiddwa mu kusunsula emmwanyi okuzitereka, okutereka kasooli n’okumugula era nga kirina n’ekyuma ekyazimbibwa okuyambako ku mirimu gino.
Minisita Kakomo yatendereza bannakibiina kino olw’okukuuma ettaka ly’ekibiina kino ne tebatakemebwa kulitunda wadde nga lisangibwa mu kibuga wakati.
Era abasiimye olw’okuyita mu muyaga gw’ebyobufuzi era ng’akaseera konna basigadde bafaayo nnyo ku mutindo era n’ategeeza nti ekibiina kino egenda kukikozesa nga eky’okulabirako.
Abatandisi b’ekibiina kino bawadde abatandisi b’ebibiina by’obwegassi ebirala amagezi okubeera abeerufu nga Katikkiro bw’abakalatira nga kino kya kubakuuma ebbanga ddene