Musasi Waffe
Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi, Owek Robert Waggwa Nsibirwa avumiridde ebikolwa ebiwebuula ennono y’obwakabaka ku mikolo gy’okwanjula naagamba nti bangi bagifudde gyakwejalabya.
Okwogera bino abadde atikkula Luwalo amagombolola n’amasomero agakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe.
Yagambye nti amazina ennyambala n’ebigambo ebyogerwa tebikyali ku mulamwa gwa kwanjula wabula nga kati byafuuka bya kwejalabya. Alaze obwennyamivu nti n’abantu abakuze mu myaka bwebabeera ku mikolo gino bakuba bukubi ngalo mu kifo kyokugolola ensobi ezikoleddwa. Waggwa yasabye aboogezi b’okumikolo okulambika bannanyini mikolo ku birina okukolebwa ebitatyoboola nnono ya Baganda ey’okwanjula.
Minisita era yasabye abayizi bakozese omukisa gwebalina ogwokusoma era tebaguzanyisa kubanga bangi tebagulina.
Mu ngeri yeemu yasabye abakulembeze mu Bwakabaka bakubirize abantu okulembeka amazzi g’enkuba gabayambeko mu biseera by’omusana.
Ate yye Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Owek Joseph Kawuki ng’ayogerera ku mukolo gwegumu, yasabye abayizi okunyiikira okusoma ebitabo byabwe basobole okufuuka ab’omugaso mu ggwanga.
Bwebati bwebaleese Oluwalo
Ssaabagabo Lufuka (Kyaddondo)
Amasomero
Bahati High 100,000
Kampala View private school. 165.000
Aggrey memorial sec. Sch. 100,000
Ssingo
Mutuba XVI Ddwaniro 750,000
Mutuba II Butemba 600,000
Dr. Philip Mpaata &ARLOMUL 500,000