Bya Ssemakula John
Minisita omubeezi owa bakozi Mwesigwa Rukutana ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti.
Rukutana yali yasindikibwa ku alimada mu kkomera e Kitalya nga 7/September/2020 ku misango gy’okugezaako okutta omuntu, okulumya omuntu namuteekako ebisago, okutiisatiisa wamu n’okwonoona ebintu.
Kino kyava ku mivuyo wamu n’okulwanagana ebyali mu kalulu ka kamyufu k’ekibiina ki NRM mukitundu kye Rushenyi mu Ntungamo gyeyali ayagala okukwatira ekibiina bbendera agende mu Palamenti.
Leero ku makya, Munnamateeka wa Rukutana Owen Murangira yasabye kkooti ekkirize omuntu we ayimbulwe era ekintu kkooti kyekiriza.
Murangira yategeezezza nti, Rukutana bwasabiddwa okuwaayo akakalu ka bukadde 4 ezaabuliwo.
“Asabiddwa okuwaayo Paasipooti ye era nabamweyimiridde nebalangirwa buli omu okuwaayo akakalu ka bukadde 50 ezitali zabuliwo. Kkooti etegeezezza nti ono asobola okufuna Paasipooti ye bwaba nga ayagala okubaako walaga,”Murangira bweyategeezezza.
Abeeyimiridde Rukutana kuliko; eyali Minisita Jim Muhwezi, omusuubuzi Bob Kabonero wamu n’Omubaka wa Igara East, Micheal Mawanda.
Okusooka oludda oluwaabi lwasaba omulamuzi aleme kuwa Rukutana kweyimirirwa kubanga ono yali agenda kuyingirira okunoonyereza wabula bannamateeka be nebakigaana nga bagamba nti tewali bukakafu ku nsonga eno.
Bannamateeka ba Rukutuna bategeeza nga kkooti bwetasobola kwesigama ku kuteebereza kwa ludda luwaabi okuggyako Minisita Rukutana eddembe lye.
Kinajjukirwa nti, Pulezidenti Museveni yavaayo nawakkanya okweyimirirwa kwa Rukutana nategeeza nti, ebikolwa byeyakola byali tebikkirizika.