Bya Francis Ndugwa
Katwe – Kampala
Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu ba Kabaka okwettanira enkola ya Yinsuwa basobole okufuna obuyambi nga batuuse mu mbeera y’obulwadde era basobole okutambuza obulungi obulamu bwabwe.
Okusaba kuno kukoleddwa Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku by’obulamu n’enkulaakulana z’abantu ba Kabaka, ebyenjigiriza, abakyala n’ekikula ky’abantu Dr. Prosperous Nankindu bw’abadde alambula woofiisi za kkampuni eno, Katwe ku Muganzirwaza ku Lwokusatu, okulaba entambula y’emirimu.
Okusinziira ku Minisita Nankindu, Ssaabasajja Kabaka yatandikawo kkampuni eno eya Weerinde Insurance Services ng’ayagala abantu be banguyizibwe mu mbeera z’ebyobulamu.
Kyokka Owek. Nankindu ategeezezza nti mu kiseera waliwo obwetaavu mu Uganda ne Buganda, abantu okubeera ne Yinsuwa wabula olw’abantu obutamanya migaso gyayo bangi tebagyettanira.
Minisita Nankindu asabye abakulira Weerinde Insurance Services okusomesa abantu ba Kabaka emigaso gya Yinsuwa.
Akulira Weerinde Insurance Services, omuk.Jannifer Mirembe Ssensuwa, asabye abantu ba Kabaka okwettanira Weerinde okusobola okuyambibwa n’ategeeza nti bamaze okufuna ebbaluwa ebakakasa okuva mu gavumenti.