Bya Ssemakula John
Ndeeba
Minisita w’obuwangwa n’ennono era avunaanyizibwa ku by’obulambuzi mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. David Kyewalabye Male, alagidde abantu bonna abali ku Nnyanja eno nga bakola emirimu egityoboola ekitiibwa kyayo, okugyamuka kubanga ekiseera ekyabaweebwa kyaggwaako dda.
Okulabula kuno Minisita Kyewalabye akukoze alambula omulimu gw’okuyooyoota ennyanja ya Kabaka wamu n’okugiteekateeka we gutuuse, esobole okukuumibwa nga ya byafaayo.
Minisita Male agambye nti balina omulimu gw’okulaba nti ennyanja eno tetyoboolwa kubanga ya byafaayo nga mu nsi yonna y’esinga obunene eyasimibwa n’engalo era nga yasimibwa Ssekabaka Mwanga II.
“Ebbanga lyabwe lyaggwaako dda era bansuubiza bo bennyini naddala abooza emmotoka nti, guno omwezi gunaagenda okuggwaako nga bavuddeko.” Minisita Kyewalabye bw’agambye.
Minisita y’omu, avumiridde abantu naddala abo abali okumpi n’ennyanja eno abatyoboola ekitiibwa kyayo nga bagisuulamu kazambi n’ategeeza ng’amateeka bwe gagenda okubakolako.
Akoowodde ekitongole kya Kampala City Council Authority (KCCA) kiwe abantu abali mu kitundu ekiriraanye ennyanja eno emidumu egitambuza kazambi, ennyanja esobole okukuumibwa n’ekitiibwa kyayo.
Ono alagidde abeesenza ku ttaka lino okugyamuka ng’obudde bukyali, awatali ekyo baakukolebwako ng’amateeka bwe galagira.
Minisita Kyewalabye agambye nti enteekateeka ekoleddwa yaakulaba ng’ennyanja eno ekozesebwa ng’ekyobulambuzi era ng’egenda kusimbibwako omuddo, n’okussaako ebifo awasobola okuzannyirwa emizannyo egy’emikono, kiyambe okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.
Bino we bijjidde, nga Minisita Kyewalabye yaakamala okulangirira ng’Obwakabaka bwe bwagguddewo ebifo byabwo eby’ebyobulamuzi eri abantu oluvannyuma lw’emyezi mukaaga nga biggaddwa olw’ekirwadde kya COVID-19.